TOP

Bakutte abanyaga abalwadde e Mulago

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 17th November 2019

POLIISI y’e Mulago ekutte abantu babiri n’ebaggalira nga kigambibwa nti babadde basusse okujjanga mu ddwaaliro ne banyagulula abalwadde.

Waka 703x422

Abaakwatiddwa ye Shivan Ndagire 18 ne Richard Namukono. Okukwatibwa kwavudde ku balwadde okwemulugunya ku poliisi y’e Mulago ku bantu abeefuula abajjanjabi ne bababbira ebintu.

Poliisi mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu yakoze ekikwekweto munda mu ddwaaliro n’esobola okukwata abantu mukaaga wabula abalala baayimbuddwa n’esigaza Namukono ne Ndagire oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebizibiti ebigambibwa nti byabadde bibbiddwa ku balwadde.

Ndagire yategeezezza nti tamanyi kimutuma kubba bantu n’ategeeza nti olw’okwegomba ebirungi yeesanga alina ekintu ekimwambadde n’atandika okubba abalwadde.

Yagambye nti oluvannyuma lw’okukwatibwa n’aggalirwa e Luzira yasalawo okudduka ewa ssenga we e Buwambo n’ategeeza nti kati abadde aliko mukwano gwe omuwala gw’asula naye e Mulago kyokka nti okwegomba okusukkiridde kwe kusinze okumusuula mu ntata.

Bagguddwaako omusango gw’okusangibwa n’ebibbe ku fayiro SD:02/12/11/2019 ku poliisi y’e Mulago.

Akulira poliisi eno omuggya, ASP Denis Bulwa Bello yategeezezza nti ababiri bano si gwe mulundi ogusoose okubakwata.

Babadde baakayimbulwa mu kkomera e Luzira gye baali baatwalibwa oluvannyuma lw’okukwatibwa mu misango gye gimu.

Yalabudde n’abagufudde omugano okujjanga mu ddwaaliro ne badda ku balwadde ne babanyagulula nti tebagenda kubaganya kutigomya bantu bali mu ddwaaliro n’alabula buli abadde akikola okukikomya nti kubanga singa banaakwatibwa tewali ajja kuttirwa ku liiso.

 

 

 

 

 

 

 

POLIISI y’e Mulago
ekutte abantu babiri
n’ebaggalira nga kigambibwa
nti babadde
basusse okujjanga mu
ddwaaliro ne banyagulula
abalwadde.
Abaakwatiddwa ye Shivan
Ndagire 18 ne Richard Namukono.
Okukwatibwa kwavudde ku balwadde
okwemulugunya ku poliisi
y’e Mulago ku bantu abeefuula
abajjanjabi ne bababbira ebintu.
Poliisi mu kiro ekyakeesezza
Olwokusatu yakoze ekikwekweto
munda mu ddwaaliro n’esobola
okukwata abantu mukaaga wabula
abalala baayimbuddwa n’esigaza
Namukono ne Ndagire oluvannyuma
lw’okusangibwa n’ebizibiti
ebigambibwa nti byabadde bibbiddwa
ku balwadde.
Ndagire yategeezezza nti tamanyi
kimutuma kubba bantu n’ategeeza
nti olw’okwegomba ebirungi yeesanga
alina ekintu ekimwambadde
n’atandika okubba abalwadde.
Yagambye nti oluvannyuma
lw’okukwatibwa n’aggalirwa e
Luzira yasalawo okudduka ewa
ssenga we e Buwambo n’ategeeza
nti kati abadde aliko mukwano gwe
omuwala gw’asula naye e Mulago
kyokka nti okwegomba okusukkiridde
kwe kusinze okumusuula
mu ntata. Bagguddwaako omusango
gw’okusangibwa n’ebibbe ku
fayiro SD:02/12/11/2019 ku poliisi
y’e Mulago.
Akulira poliisi eno omuggya, ASP
Denis Bulwa Bello yategeezezza
nti ababiri bano si gwe mulundi
ogusoose okubakwata. Babadde
baakayimbulwa mu kkomera
e Luzira gye baali baatwalibwa
oluvannyuma lw’okukwatibwa mu
misango gye gimu.
Yalabudde n’abagufudde
omugano okujjanga mu
ddwaaliro ne badda ku balwadde
ne babanyagulula nti tebagenda
kubaganya kutigomya bantu
bali mu ddwaaliro n’alabula buli
abadde akikola okukikomya
nti kubanga singa banaakwatibwa
tewali ajja kuttirwa ku liiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza