Med Mugerwa ssentebe w’ekitundu yategeezezza nti; “landiroodi w’ennyumba Aligaweesa kw’abadde apangisa yandeetera okwemulugunya oluvannyuma lw’okumala emyezi mukaaga nga tamusasula.
Kuno yagattako n’okumutiisatiisa ng’agamba nti ye ku kyalo yajjako nga mbega w’ekitongole ky’ebyokwerinda ekimu noolwekyo balina okumukwata n’obwegendereza.
Twawandiikira Aligaweesa enfunda eziwera okujja mu lukiiko lwa LC okwennyonnyolako ne yeerema, ensonga kwe kuzongerayo ku poliisi e Kawempe.”
Abakwasaganya poliisi n’omuntu waabulijjo bwe baamuyise okumubuuza ku nsonga y’obutasasula landiroodi we, yavuddeyo ng’abavumyevumye.
Mu lukiiko lwa LC olwatudde nga October 10, 2019 twakkaanyizza Aligaweesa agobwe ku kyalo.
Mugerwa agamba nti kino baakikoze olw’okuba ebbanga ly’amaze ku kitundu yagaana okweyanjula mu lukiiko lw’ekyalo, abadde tasasula nnyumba ate nga musiiwuufu wa mpisa.
Bwe twafunye amawulire nti ali mu nteekateeka okudduka mu nnyumba nga tasasudde, twakozesezza obuyinza bwaffe okumutabaganya ne landiroodi we.
Mugerwa ayongerako nti okulemesa Aligaweesa okuva ku kyalo nga tasasudde 1,600,000/- ezibadde zimubanjibwa, ensonyi yazifudde obusungu n’atulangira nga bwe tuli ababbi b’ettaka n’atusuubiza n’okukulemberamu kaweefube w’okuyiwa olukiiko lwange.
Kuno yagasseeko n’okukuba wamu n’okulumya abaserikale bange abakuuma ekyalo. Aligaweesa bye yatulaze tetusobola kusigala naye kuba waabulabe.
Kyokka oluvannyuma Aligaweesa nga ye nnannyini J.A Super Digital Studio e Kazo yeetonze.
“Neetondera aboolukiiko olw’effujjo lye nabakozeeko era ndi mwetegefu okusasula ssente ezimmanjibwa.”
Niah Nanyonga nga ye landiroodi n’aba LC baakalambidde ku kya Aligaweesa okuggya ebintu bye mu nnyumba n’okuva ku kyalo.
Yalabise ng’asobeddwa oluvannyuma lw’okukuba amasimu ag’okumukumu okusobola okufuna ssente asasule ebbanja.
Baamulagidde okulekawo ebintu ebimu okwabadde ebyuma ebyoza n’ebifulumya ebifaananyi ng’omusingo kw’anaasasulira ssente ezimubanjibwa.