TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebirabo Hamza bye yatutte mu kwanjula Rema bigabaniddwa

Ebirabo Hamza bye yatutte mu kwanjula Rema bigabaniddwa

By Ponsiano Nsimbi

Added 17th November 2019

ABA famire ya Rema Olwokutaano baalumazeeko beetala oluvannyuma lw’okugabana ebintu ebyaleeteddwa mu kwanjula kwa muwala waabwe.

Unity0 703x422

Ono omukyala yabuukidde boodabooda n’abulawo.

Abataasuze waka awaabadde omukolo e Nabbingo mu Bataka nabo baakedde kugendayo nga bayitiddwa okuweebwa ku bintu omuko Hamza Sebunya bye yaleese.

Okugabana kwatandise ku makya g’Olwokutaano era kwakuliddwa Dennis Ssewankambo eyabadde avunaanyizibwa ku sitoowa omwaterekeddwa ebintu ng’ali wamu ne bataata, bamaama ne ba Ssenga ba Rema obwedda abasalawo ku buli muntu ky’alina okuweebwa okusinziira ku buzito bwe.

Ebyagabiddwa mwabaddemu, omuceere, sukaali, omunnyo, enkoko, amatooke, embuzi, ennyama, sabbuuni, sooda n’ebirala.

Mu kugabana ebintu, embeera yabadde ya keetalo nga buli omu alina ensonda w’akungaanyiza ebibye era oluvannyuma abamu baalabiddwaako nga babisomba babipakira mu mmotoka zaabwe ate abalala baawalirizidddwa okupangisa boodabooda kwe baatudde n’ebintu byabwe bye baagabanye.

 

 bakyala nga bakungaanya ebintu bye baabawadde Abakyala nga bakung’aanya ebintu bye baabawadde.

 

Abalala abaabaddewo ng’omukolo ogw’okugaba ebintu gukolebwa ye Hajji Isa Musoke eyabadde ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi ng’ono oluvannyuma yeegattiddwaako maneja wa Rema Geoffrey Kayemba.

Aba famire bwe baamaze okufuna bonna, abaabadde bagaba baagabiddeko ne ku bamu ku baliraanwa era n’aba boodabooda ku siteegi eriraanyeewo ne babawa.

Kayemba yeebazizza abantu bonna abeetabye ku mukolo guno naddala Nnaabagereka eyagambye nti omukolo gwatambudde bulungi nga bwe baabadde basuubira kyokka n’asaba abantu okubasonyiwa kw’ebyo ebitaatambudde bulungi.

Abatuuze b’e Nabbingo naddala abavuzi ba boodabooda na kati omukolo gwa Rema ne Hamza bakyagunyumyako olw’ebintu bye baagufunyemu okwabadde ssente enkalu, emigaati, amata ne sukaali ebyabaweereddwa.

Kyokka waliwo abatuuze abaasigadde bakukkuluma olw’obutayitibwa ku mukolo.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.