TOP

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

By Musasi wa Bukedde

Added 17th November 2019

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka tebasobola kuzirambulula mu kiseera kino, kubanga ensi yajjula abalogo n’abantu ab’ettima abataagaliza abasobola okwekiika mu ntegeka ssinga bazimanya mangu.

Buuza 703x422

Sebunya ne Rema nga basala ddansi.

SSENTEBE wa Kwagalana bwe yabadde ayogera ku mukolo gw’okwanjula Rema, yagambye nti abantu bye baalabye mu kwanjula byabadde biwero, balinde embaga egenda okumenya emiti!

Godfrey Kirumira mu kiti kye ng’omuzadde ludda lwa Hamza Sebunya ate era nga Ssentebe w’ekibiina ky’abagagga Kwagalana abaatadde ensimbi ennyingi mu mukolo gw’okwanjula; yagambye nti embaga eno yaakubeerawo omwaka ogujja.

Wabula Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka tebasobola kuzirambulula mu kiseera kino, kubanga ensi yajjula abalogo n’abantu ab’ettima abataagaliza abasobola okwekiika mu ntegeka ssinga bazimanya mangu.

Wadde pulaani y’embaga abamu ku beenyigidde mu kwanjula bagirina, wabula ensonda zaategeezezza nti Rema Namakula ne Sebunya si kye kintu kye bataddeko amaanyi mu kiseera kino era nti kati batunuulidde kya kuzimba famire ennyweevu n’okunyweza emisingi gy’obufumbo bwe baatandise.

Wadde mu kwanjula okwa bulijjo abako bagenda okuvaawo nga bawadde olunaku embaga lw’enaabeerawo, wabula ewa Rema, olunaku abako baavuddeyo tebaluwadde era kya kusalwawo luvannyuma.

Rema bwe yabadde ayogera ku mukolo gw’okwanjula yakirambise nti oluvannyuma lw’okuwoowebwa ne Hamza ate n’omukolo gw’okwanjula ne gukolebwa; Bamaseeka baabawadde olukusa okutambuza obufumbo kubanga kati buli mu mateeka ag’eddiini, n’amateeka ag’ensi.

Omu ku ba famire yategeezezza nti Rema wa nkizo nnyo mu kusalawo ku by’embaga eyo era balinze kigambo kye; olwo balyoke batandike entegeka. Kyokka Bukedde mu kwogera ne Rema ku ssimu ku nsonga za pulaani y’embaga, yayanukudde kimu; “musooke mutulekemu.”

Hajji Isa Musoke eyabadde ssentebe w’olukiiko olwateeseteese okwanjula kwa Rema bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti enteekateeka weeri era mu maaso eyo bajja kuba bajanjulira abantu.

Geofrey Kayemba maneja wa Rema yagambye nti “Eby’embaga sibimanyiiko naye kye mmanyi mu buwangwa ab’oludda lw’omulenzi bawandiika ebbaluwa mu butongole etutegeeza ku mbaga ne lwe bagisuubira okubaawo; kati katulinde ebbaluwa.” Abamu ku bafamire bakyalina ebibuuzo ku mbaga oba enaabeerawo nga beesigama kw’ebyo ebiva ku ludda lw’omusajja n’ebyo ebiva ku ludda lwa Rema ebiraga nti tewali kyasaliddwaawo.

Kyokka abamu ku baabadde ku mukolo baagambye nti oluvannyuma lw’amaanyi agaayoleseddwa ku mukolo gw’okwanjula n’ensimbi ennyingi ezaateekeddwa mu kwanjula, abagole beetaaga obudde bave mu bukoowu obwo, balyoke balowooze ku by’embaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.