TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza

Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza

By Musasi wa Bukedde

Added 17th November 2019

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne metulooni we, Evelyn Namulondo ne bagenda e Kyengera ewa ssenga ow’ensonga, Sarah Nabatanzi ne bakola emikolo gy’okumuyingiza mu kika mu butongole.

Laga 703x422

EMIKOLO GY’OBUWANGWA GYE BAAKOZE KU REMA

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza kolo, Rema yali ne metulooni we, Evelyn Namulondo ne bagenda e Kyengera ewa ssenga ow’ensonga, Sarah Nabatanzi ne bakola emikolo gy’okumuyingiza mu kika mu butongole.

Emikolo gyetabako ne bassenga ba Rema abalala okwali; Sylvia Nabatanzi, Gladys Naluyimba Semwogerere, Agnes Nakato Najjuma ne bataata ba Rema abato omuli, Gilbert Musaanya, Joshua Semakula Mazinga, Kizza, Frank Kamya Sserunjogi nabo baabaddewo.

Omuko ow’ensonga Gerald, Semwogerere naye yabaddewo. Bangi ku abo ng’oggyeeko Ssenga Sarah Nabatanzi, Rema yabalaba ku olwo.

Beekubisa ebifaananyi bonna lumu ate bwe baamala Rema ne yeekubisa ekifaananyi ekikye na buli omu ku abo okubikuuma ng’ekijjukizo.

Omukolo ogwo, Muyiisa agamba nti ne maneja wa Rema, Godfrey Kayemba yakiikirirwa okulaga ekika abantu b’akola nabo. Ku olwo, Rema eyali talabanga ku bifaananyi bya bazadde be, Charles Mukiibi lwe kyamuweebwa.

Muyiisa agamba nti, Rema yayogera ebintu bibiri ku kitaawe nti, “Eh taata nga yanzaala muto nnyo.

Ate nga yafa mangu.” Wabula nti, ebyo tebaabirwako kubanga tegwali mukolo gwa nnaku.

Ebifaananyi, Rema yabasuubiza okubyokyamu kkopi ezize abibaddize babikuume. Mu balala abaali mu bifaananyi ebyo ebyakubwa ku mbaga ya John Chrisestom Muyiisa ng’awasa Rosemary Nakafuuma mu 1989, mulimu jjajja wa Rema, Aloysious Mukiibi azaala Charles Mukiibi taata wa Rema.

Ku mukolo ogwo, ab’ekika kwe baategeerezza abateesiteesi b’omukolo gwa Rema okwanjula Dr. Hamza Sebunya e Nabbingo mu Bataka ku Lwokuna nga bangi bwe baali tebannafuna kkaadi.

Ssenga Nabatanzi eyayogera ku lwa banne, yeebaza abantu bonna abababeereddewo mu kukuza omwana waabwe mu budde we baali tebannamumanya.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.