TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya ab'ekika kye

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya ab'ekika kye

By Musasi wa Bukedde

Added 17th November 2019

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku mukolo ogumu ogw’embaga, Nabatanzi n’amugamba nti, “Rema okimanyi nti, nze Ssenga wo”; Rema n’atya.

Bwama 703x422

Rema (afukamidde) nga yeebaza baaba we gw’ayita maama, Hanifa Birungi (ku ddyo) okumukuza. Mu katono Hanifa bw’afaanana.

Baagobawo ddereeva wa Rema ne boogerera mu mmotoka ebintu bingi ebyaleka Rema nga yeewuunya ebimugambiddwa oba bituufu.

Wano Muyiisa agamba nti, yasalawo ave e Ssese mu bizinga gy’abeera n’ajja mu Bukedde n’ategeeza nga bw’ayagala okumuyambako okutegeeza Rema nti, be bamuzaala.

Nga bigenze mu mawulire ne Rema yabaddiramu mu mawulire nti, bwe baba be bamuzaala basisinkane era bwe kyali ne bakwatagana.

Muyiisa agamba nti, Bukedde ky’ebakoledde kikulu okutuusa n’okuweereza ebifaananyi byagwo butereevu ku ttivvi, mu mpapula ne ku yintaneeti.

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Ng’enteekateeka z’emikolo zigenda mu maaso, baasisinkanye okutema empenda z’emikolo.

Kino kyavudde ku Rema okumanya obukojjaabwe gye yakulira nga maama we, Hamidah Nabbosa afudde.

Ebika byombi byasisinkanye okutegeka emikolo gy’okwanjula bombi kwe baategeeredde nti, baamuzaala bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.