TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti etaddewo bbiriyooni 110 okulwanyisa obwavu

Gavumenti etaddewo bbiriyooni 110 okulwanyisa obwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

GAVUMENTI etongozza enteekateeka empya ey’okulwanyisa obwavu.

Unity 703x422

Haruna Kasolo ng'ayanjula enteekateeka ya Pulezidenti

Mu nteekateeka eno, gavumenti etaddewo bbiriyooni 110 ezigenda okuyisibwa mu bibiina ebya SACCO.

Okuganyulwa mu ssente zino olina kuba ng'olina ekibiina kye weegattiramu nga mulina ekiruubirirwa ky'okwegobako obwavu.

Minisita avunaanyizibwa ku Micro Finance, Haruna Kasolo Kyeyune yakiikiridde Pulezidenti Museveni ku mukolo ogw’okwanjula nteekateeka eno eri abakulembeze, n’abakozi ba gavumenti ba disitulikiti y'e Mukono, Kayunga, Buikwe ne Buvuma.

Yatongozza n’akakiiko akagenda okuddukanya enteekateeka eno nga kakulirwa omubaka wa Pulezidenti e Mukono Fred Bamwine.

Kasolo yagambye abantu abakola emirimu egy'enjawulo okuli baddereeva ba takisi, Saluuni, ababazzi, abakulembeze, abakyala , bannamawulire, abatunda ebirime, abafumba emmere, abakola mu butale, abe byalaani bamakanika, aba bboodabbooda, abaazirwanako, abavubi, abayimbi n’abalala nga baweza emyaka 18 baddembe okwekolamu ekibiina okutandikira ku miruka gyabwe bajja batandike okutereka oluvannyuma beekolemu SACCO ku mutendera gwa disitulikiti beerondemu abakulembeze Pulezidenti abawe ssente obukadde 30 ne 50.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.