TOP

Ensaasaanya ya ssente ku mukolo gwa Rema yiino

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Okwanjula kwa Rema Namakula kwabaddeko obukolomooni, ye yennyini Rema bwe yayogeddeko nti bwakoleddwa okuleetawo enjawulo ku kwanjula okulala.

Laba1650988 703x422

Yayanjudde Dr. Hamza Sebunya ku mukolo ogw’ebbeeyi ogwabadde e Nabbigo mu zooni Bataka mu Wakiso.

Rema yanaanise munne empeta ate Ssebunya naye n’aginaanika Rema. Ku mikolo gy’okwanjula egyabulijjo, omwami y’anaanika omugole empeta ya nkusibiddaawo (engagement ring).

Ate bwe baatuuse mu kulya n’ennyambala y’abagole ne kisukka era bangi baawuliddwa beebuuza ssente mmeka ezaasaasanyiziddwa ku mukolo.

Rema yagaanye okwogera omuwendo gwa ssente ezaasaasaanyiziddwa, kyokka mikwano gye egy’oku lusegere gyategeezezza nti omukolo gwagenzeemu obukadde nga 700 era nga waliwo n’ebintu bingi Rema bye yayongeddemu ebitaabadde ku bajeti.

“Ky’olina okumanya Rema yabadde afa kimu kukola mukolo nga gwa njawulo era yafubye okulaba nga buli kimusanyusizza akiteekamu. Ne ku ssaawa esembayo alina bye yataddemu nga ku bajeti tebyaliko,” bwe yagambye Ye omugagga Godfrey Kirumira eyakulidde enteekateeka z’oludda lwa Sebunya gye buvuddeko yategeeza nga bwe baakuhhaanyizza obukadde 500 ku ludda olwabwe.

 ema ne amza nga basala kkeeki igambibwa nti eno waliwo eyagitonedde ema Rema ne Hamza nga basala kkeeki. Kigambibwa nti eno waliwo eyagitonedde Rema.

ENTEMAATEMA YA SSENTE

Okusinzira ku bantu Rema be yapangisizza okukola emirimu, abakugu mu by’okutegeka emikolo batemyetemye era ne batusiigira ekifaananyi kya ssente ezasaasaanyiziddwa ku mukolo.

1 Okutimba kye kimu ku byasinze okutwala ssente ennyingi. Baasaasaanyizza obukadde obwasobye mu 50. Irene Nantumbwe owa 1608 Niche Designs eyakoze ku by’okutimba wadde tayogera ssente ze baamuwadde, agamba Rema yamusaba afuule omukolo gwe ogwenjawulo naye kwe kuyiiya ng’akozesa langi enjeru n’enzirugavu.

l Ono amaanyi okusinga yagatadde ku weema ey’abantu 1,000 omwabadde omukolo gye yatonyeetonye n’eyakaayakana ng’oyinza okulowooza bali munda mu kizimbe.

l Ng’oggyeeko ekiwempe ekyeru eky’omulembe kye baayaliridde wansi okwetooloola weema, ekituuti ky’omugole we yatudde (gazebo) kyakoleddwa nga kyanjawulo,

l Wansi yabadde ku ndabirwamu ezitangalijja ate waggulu baakikoze mu kifaanaanyi ky’omuti omweru (winter wonderland tree) ate emabega ne bateekayo ebifo obwedda omuva amazzi agayiika ng’ebiyiriro (fountain).

l Obutebe n’emmeeza byabadde bya mulembe nnyo ate waggulu baasibye ‘siringi’ nga bakozesa engoye enjeru ne bateekayo n’ebitaala ebiyiikayiika (chandelier lights) eby’ebika eby’enjawulo.

Omu ku balina kkampuni ezikola ku by’okutimba emikolo mu Kampala era nga yabaddeyo ku mukolo gwa Rema agamba bwati: Mu kifo kino wabaddewo weema mukaaga, ennene ey’abantu 1,000 emu eno epangisibwa obukadde mukaaga (6,000,000/-) okudda waggulu okusinziira ku kkampuni gy’okozesezza.

 butebe namataala agebbeeyi kutimba kye yasembye okwambala kwamazeewo obukadde obusoba 50 Obutebe n’amataala ag’ebbeeyi. Okutimba kye yasembye okwambala. kwamazeewo obukadde obusoba 50.

Weema bbiri ezituuza abantu 500 mwe baaliiridde emmere buli emu eri ku bukadde busatu (3,000,000/-) kuno ssaako weema ezituuza abantu 100 bbiri, n’emu ey’abantu 50.

Obutebe obw’omulembe abantu kwe baatudde kika kya ‘shivery chairs’ dizayini y’ekyuka, buli kamu kapangisibwa 7,000/- bwasobye mu butebe 700 kuno gattako obutebe obwabulijjo obwa pulasitiika.

l Emmeeza ez’omulembe buli emu ya 70,000/- zaabadde 60 nga buli emu etuuza abantu 10. Omukolo gwetabiddwaako abantu abaabadde mu 1,500. Ku bano 1,100 be baatudde mu weema omwabadde omukolo.

l Ekituuti ky’omugole (gazebo) na byonna ebyabadde mu kifo ekyo yabibaliridde obukadde 4.

l Siiringi (draping ceiling) ebikozesebwa n’abakozi okugisibayo yabibaliridde obukadde 5. l Amataala (power cans ne sport light) obukadde 2.

l Ebitaala ebiyiikayiika (chandelier light) buli kimu ekinene bakipangisa 350,000/- ebitono batandikira ku 100,000/-

l Ekiwempe ekyeru kiyite ‘canvas carpet’ buli ‘roll’ ya mitwalo 40. Mu weema ey’abantu 1,000 weetaaga roll 15 n’okusingawo.

 kiteeteeyi ekyamataala ema butebe namataala agebbeeyi kutimba kye yasembye okwambala Ekiteeteeyi eky’amataala Rema Obutebe n’amataala ag’ebbeeyi. Okutimba kye yasembye okwambala.

2 Emmere: Ng’oggyeko kkampuni ya 2K eyapangisiddwa okufumba, waliwo ne kkampuni eyapangisiddwa okwokya omucomo n’enkoko.

l Essowaani y’emmere ku 2K etandikira ku 25,000/- okudda waggulu naye omuntu ow’omukolo nga Rema eyabadde n’abantu 1,500 basobola okukusalirako. Ebyokunywa nga oggyeko amazzi ne sooda obwedda bye bagabira ku mmere, waabaddewo ‘juice’ ne caayi obwedda abantu gwe banywa era bino byakoleddwaako kkampuni ya Dalausi juice.

l Ekidomola kya liita 20 ekya juice kiri ku mitwalo 25 ate caayi wa 5,000/- buli kikopo.

3 Kkeeki: Eno yakoleddwa aba Sarah’s cake. Ng’oggyeeko eyabadde ku mmeeza (gye baasaze) ey’amadaala omukaaga, amadaala agasoba mu 20 gaabadde gapangiddwa mu bbookisi obwedda Rema z’agabira abagenyi be abakulu n’abalina kye baamuyambye mu nteekateeka. Kigambibwa keeki teyagitaddemu ssente, waliwo omu ku bantu be eyagimuwadde ng’ekirabo.

4 Ebyambalo: Mu bimu ku byasinze okucamula abantu z’engoye ez’omulembe Rema ze yayambadde, baakyusizza emirundi ena era nga buli lwe bavaayo olabira ddala nga be bagole.

Patience Kentalo owa Talo Couture Collections eyakulidde ttiimu ey’abantu abataano abaakoze ku kwambaza Rema, Hamza n’emperekeze yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka mu nkola emisono gy’engoye.

 

Bajeti y’okwambala yali emu nga kuno kuliko engoye ze yayambala mu kukyala ewa ssenga, ku kabaga ka ‘introduction shower’ nga mikwano gye gimusiibula mu butongole ne ze baayambadde mu kwanjula era wano baasaasaanyizza obukadde obuli mu 200.

Kuno kuliko okugula ‘matiiriyo’, okulinnya ennyonyi ne badizaayina okugenda mu mawanga okuli; Amerika, Yitale, Turkey, Pakistan n’awalala gye baaguze engoye n’ebirala.

Kentalo yagambye nti obutaala bwokka obwateereddwa mu kiteeteeyi kye yafulumiddemu ng’aleeta ‘kabbo ka muwala’ yabusaasaanyizzaako obukadde 12.

Kuno kuliko n’okulinnya ennyonyi okugenda e Turkey gye baabugula ssaako okubutwala e Yitale gye okubwongeramu busobole okukola kye baagala.

Wadde ekiteeteeyi kya Rema kino kyacamudde bangi olw’okwaka obutaala era bamu nga balowooza eno dizayini mpya, mu mawanga g’Abazungu babikozesa nnyo naddala ku mikolo gw’embaga n’emisono.

Birimu ebika, nga kino ekya Rema kyefaanaanyiriza ebiteeteeyi ebiyitibwa ‘led light up princess dresses’.

Bino bigula wakati wa ddoola 480 (mu za Uganda 1,779,153/-) ne ddoola 1,000 (mu za Uganda 3,683,548/-) ate waliwo n’ebisingirawo ddala ebbeeyi okusinziira ku matiiriyo, dizayini y’olugoye n’obutaala n’ekifo oba ensi mw’obiguze.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...