TOP

Obugaali bwe baasuubiza aba LC bubatabudde

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Yagambye nti baludde nga baagala okusisinkana Puezidenti kyokka amabaluwa ge bawandiika tebamanyi oba gamutuukako ng’ate n’abantu be babadde batuukirira okubatuusaayo bakyalemeddwa okubatwala.

Bassentebeweb 703x422

Abamu ku ba LC abaabadde mu lukiiko.

Bya Rosemary Nakaliri
 
BASSENTEBE ba LC1 ne LCll mu Kampala bakkukkulumidde Gavumenti olw’okulemererwa okubawa obugaali maanyi ga kifuba ne 10,000/-  ezaabuli mwezi Pulezidenti Museveni ze yabasuubiza okubayamba mu mirimu gyabwe. 
 
Baabadde mu lukiiko olwatudde ku Ssande e Nakulabye mwe baakubaganyizza ebirowoozo ku mitendera gye balina okuyitamu okusisinkana Pulezidenti.
 
Stephen Nsereko, ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yagambye nti Gavumeti tebafudde wadde ekimanyi nti be bakulembeze abasinga okukola.
 
Yagambye nti baludde nga baagala okusisinkana Puezidenti kyokka amabaluwa ge bawandiika tebamanyi oba gamutuukako ng’ate n’abantu be babadde batuukirira okubatuusaayo bakyalemeddwa okubatwala.
 
Bassentebe abaabadde bakutte ebipande ga biwandiikiddwako nti, twagala kusisinkana Pulezidenti’,baategeezezza nti n’ababaka be baalonda okubakiikirira mu palamenti tebabasakidde wadde okutuusaayo okwemulugunya kwabwe.
 
Omwogezi w’ekibiina kino Jimmy Dheyongera yagambye nti Gavumeti yandibadde ebafaako kuba be bantu abasookerwako era abamanyi ebizibu by’omuntu wa wansi kyokka Ssentebe w’abavubuka e Lubaga Nicholas Mapeera yagam
bye nti nga Pulezidenti bwe yakkiriza okusisinkana abavubuuka ba Ghetto nabo yandibadde afuna akaseera nabasisinkana ne bamubuulira ebizibu ebiri mu bitundu byabwe kubanga babimanyi n’abantu be bakulembera nabo babamanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza