TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyafiiridde ku kyeyo bamukebedde ng'omutima n'amawugwe byalwala

Eyafiiridde ku kyeyo bamukebedde ng'omutima n'amawugwe byalwala

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Omusango guli ku fayiro nnamba SD: 33/16 /10/2019 kyokka ekimuluma Kigozi tannaba kubuuzibwa engeri gye yatwala Nakintu ku kyeyo e Al-Ain n’okumanya ekyamutuukako n’afa. Nakintu yafa nga September, 28, omwaka guno.

Nakintuweb 703x422

nakintu

Bya Mohammad Ssebuliba

OMULAMBO gw’omuwala Fatumah Nakintu eyafiira ku kyeyo e Dubai gwakomezeddwaawo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Aisha Nalubega ow’e Wakiso - Kukyoga maama w’omugenzi yagambye nti kyabatwalidde ebbanga okukomyawo muwala we kubanga baabadde balina emitendera mwe balina okuyita ekitabadde kyangu.

Wabula yakukkulumidde poliisi y’e Wakiso olw’obutamuyamba wadde yaloopa Hamid Kigozi gw’alumiriza okutwala omuwala gye yafiiridde. 

Omusango guli ku fayiro nnamba SD: 33/16 /10/2019  kyokka ekimuluma Kigozi tannaba kubuuzibwa engeri gye yatwala Nakintu ku kyeyo e Al-Ain n’okumanya ekyamutuukako n’afa. Nakintu yafa nga September, 28, omwaka guno.

 alubega maama wa akintu eyafiiridde ku kyeyo Nalubega maama wa Nakintu eyafiiridde ku kyeyo.

Willy Makubuya nga ye kojja w’omugenzi eyakomawo  n’omulambo yagambye nti ekimu ku byalwisizaawo omulambo okudda  ye minisitule okulwawo okuweereza ebbaluwa eraga nga bazadde b’omugenzi bwe bali abeetegefu okufuna omulambo gwabwe.

Nalubega yagambye  nti bwe yasemba okwogera ne muwala we yamutegeeza ng’o mukadde gwe yali alabirira bwe yafa ng’ali mu ntegekka okufuna omulimu omulala. Kyokka waayitawo ennaku bbiri zokka n’afa. 

Alipoota y’omu sawo okuva mu ddwaaliro e Mulago yategeezezza ng’omugenzi okufa kyavudde ku bulwadde obwamulumba mu mawuggwe n’omutima ogwasangiddwa nga gwetoolooddwa amazzi.  Omugenzi yaziikiddwa e Busobwe mu Buddu ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...