bya Jaliat Namuwaya
ABAZAALISA mu ddwaaliro e Mulago batandise kaweefube w’okusomesa abakyala endabirira n’enkuza y’abaana abazaalibwa nga tebannatuuka.
Abasawo okuvaayo okunnyikiza okusomesa abakyala kiddiride omuwendo gw’abaana abazaalibwa nga tebannatuuka okweyongera nga ku baana 1,000 abazaalibwa 30 baba tebanatuuka. Agnes Kirikumwino, omuzaalisa mu ddwaaliro e Mulago yagambye nti abawala abafuna embuto nga bakyali bato basobola okufuna obuzibu ne bazaala omwana nga tannatuuka. Endwadde z’ekyama, sukaali puleesa nabyo biyinza okuleetera omuzadde ekizibu n’azaala omwana atatuuse.
Kirikumwino yagambye nti ekifo we balabirira abaana bano kikyali kifunda ne basaba Gavumenti okulowooza ku kukigaziya.
Doreen Mwogererwa omuzaalisa yagambye nti abaana abazaalibwa nga tebannatuuka abazadde balina okubalabirira mu ngeri ey’enjawulo.