TOP

Omusamize yeezinze ku muduumizi wa poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

MARIAM Namaganda, omutuuze w’e Nkoni mu ggombolola y’e Kkingo mu disitulikiti y’e Lwengo atutte omuduumizi wa poliisi mu Greater Masaka, Enock Abaine mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu n’akakwasisa empisa mu poliisi ng’amuvunaana okulemesa poliisi okukwata abatuuze ababba ssente ze ezaasangibwa mu masabo ge ate oluvannyuma ne bagakumako omuliro nga ne poliisi yeetaba mu bikolwa bino.

Gaba 703x422

Namaganda ne bba Lukyamuzi. Mu katono ye Enock Abaine

Alumiriza nti poliisi y’e Nkoni yeekobaana n’abakulembeze b’ekibiina ekigatta abasawo b’ekinnansi ekya NACOTHA ne bamukwata n’aggalirwa ku poliisi e Masaka nga balumiriza nti, mu ssabo lye wakolebwayo ebikolwa ebikyamu omuli okukuba abalwadde ababa balemeddwa okusasula n’okusaddaaka abantu ekitali kituufu.

Yayongeddeko nti beeyambisa akaseera nga bamuggalidde ne basaalimbira mu maka ge n’abatuuze emirundi ebiri ne babba ssente ze 12,000,000/- n’ebintu ebikalu olwamala ne bateekera amasabo omuliro.

Alumiriza nti abaakola effujjo kwaliko abeebyokwerinda, poliisi n’akakiiko ka LC ku kyalo.

Ssaalongo Kayinga Kiggundu akulembera abasawo b’ekinnansi mu Greater Masaka, yategeezezza nti, bazze bafuna okwemulugunya ku ssabo lino kwe kusalawo okulyaza ne baasangayo engoye n’ebinnya era Namaganda yalemwa okubannyonnyola obulungi ku bintu bino ne bamuwaayo mu boobuyinza.

Namaganda yagambye nti, yasooka kwewandiisa n’ekibiina kya ‘Uganda n’Eddagala lyayo’ ate oluvannyuma ne yeewandiisa mu NACOTHA.

Ye Abaine yategeezezza nti, abaserikale baaasindikibwa kunoonyereza ku kwemulugunya kw’abantu abaali abakambwe nnyo ku mukyala ono era kyekyamuwaliriza okukubayo olukiiko okubakkakkanya kyokka olukiiko olwaddako teyaluliimu naye lwali lugenda mu maaso abamu ku bantu kwe kwemulula ne bookya amasabo ge.

Farouk Nyende akulira ekitongole kyeddembe ly’obuntu ku ttabi ly’e Masaka yakakasizza nga bwe baafunye okwemulugunya kuno nga bagenda kutandika okunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...