TOP

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde Gavumenti

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti tebafiiriddeko ddala kyokka nga be bakulembeze abasinga okukola ennyo kye yagambye nti tebakyasobola kukigumiikiriza.

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 703x422

Abamu ku bassentebe ng bali mulukiiko e Nakulabye.

BYA ROSEMARY NAKALIRI

BASSENTEBE ba LC1 ne LC2 mu Kampala bakukkulumidde gavumenti olw’obutabawa bugaali n’ensimbi 10,000/- ze yabasuubiza buli mwezi zibayambeko mu ntambuuza y’emirimu.

Bano baasinzidde mu lukiiko lwe baatuuzizza  ku Ssande e Nakulabye nga bakubaganya ebirowoozo ku kiki kye bazzaako n’okutema empenda  bwe banaayambibwa okusisinkana Pulezidenti Museveni.

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti tebafiiriddeko ddala kyokka nga be bakulembeze abasinga okukola ennyo kye yagambye nti tebakyasobola kukigumiikiriza.

Yayongeddeko nti baludde nga baagala okusisinkana pulezidenti naye nga balemesebwa ebitongole bye bazzenga batuukiria nga n’ebbaluwa ze bamuwandiikira tebafuna kuddibwamu wano we yasinzidde n’asaba pulezidenti akole enteekateeka abasisnikane.

Bassentebe ababadde bakutte ebipande ebiwandiikiddwako ebigambo  ‘twagala kusisinkana puleziddenti baategeezezza nti n’ababaka be balonda okubakiikirira mu palamenti tebabayambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...