TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza abalimi mu Lwengo

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza abalimi mu Lwengo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera mpola ppaka lwe zifuuka essanja, ate bwe kiba ng’ekitooke kitaddeko emmere, ettooke lino lyengere ne bwe liba lyakava mu ngo (empummumpu).

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 703x422

Abamu ku basuubuzi nga bakungaanya embidde mu kifo ky'amatooke ge battikanga.

Bya FLORENCE TUMUPENDE


ESSUUBI liwedde mu balimi n'abasuubuzi b'amatooke olw'ekirwadde kya kiwotoka abangi kye baakazaako erya 'Toduula' ekibamazeeko emirembe  n'okubakuba obwavu.


Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera mpola ppaka lwe zifuuka essanja, ate bwe kiba ng’ekitooke kitaddeko emmere, ettooke lino lyengere ne bwe liba lyakava mu ngo (empummumpu).


Obubonero obulala kw’olabira nti ekitooke kino kikwatiddwa ekirwadde kino, bw’oba osala ekyaayi kyaakyo kiba kikaluba ate ekigogo kikyuka kkala ne kitabulamu langi eya kyenvu ng'olwo omanya nti lubadde. Ate omugogo gwakyo bw’ogutema n’ogusuula wansi, enkeera guba guvaamu ebintu ebyefaanaanyirizaako amata agafudde nga bino biba biwunya ekivundu era osanga ensweera zigukungaaniddeko.


Abalimi bawanjagidde Gavumenti ebataase ku ddagala erivumula ekirwadde kino kuba kisensera ppaka ng'olusuku luweddewo ekintu eky'obulabe.

Obumu ku butale okuli ak'e Kinoni ne Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo obwasuubulibwangamu amatooke nga bagatwala mu bitundu bye Rwanda,Tanzania ne Kenya kwossa ne ku muliraano gwe Kampala kati bujjudemu ndiizi ne musa ate nga nazo zaakuwenja olw'ekirwadde kino.

Abakungu abavunaanyizibwa ku by'obulimi n'obulunzi mu Lwengo nga bakulembeddwaamu Kezia Bacia baategeezeza nga bwe baali bamanyi nti bakakensa bajja kuba bafunye eddagala erivumula ekirwadde kino obutasukka myaka ebiri ekitannaba kukolebwa.     Bano bawadde abalimi amagezi okutemamu ebitooke ebikwatiddwa ekirwadde kino basimbemu ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...