TOP

Munnayuganda alidde obusumba e South Afrika

By Muwanga Kakooza

Added 19th November 2019

PAAPA alonze Munnayuganda Msgr Joseph Kizito okuba omusumba w’essaza lya Klezia ery’e Aliwal e South Afrika.

Jose 703x422

Obubaka buno bwafulumiziddwa mu mawulire e Vatican . Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa  omubaka wa Paapa e South Afrika Ssabasumba Peter B Wells eyategeezezza nti Msgr Joseph Kizito agende kutuuzibwa mu ntebe mu bbanga lya myezi esatu okuva lwe yalondeddwa.

Omusumba omulonde Joseph Kizito yazaalibwa Wakaliga mu Kampala nga July 2,1967.Yasoma mbeera z’abantu (Philosophy) mu St. Augustine Major Seminary e Roma . Lesotho  wamu n’ebyeddiini (Theology) ku ttendekero lya St. John Vianney , Pretoria e South Afrika.

Yafuuka faaza nga September 27,1997. Nga tanalondebwa ku Busumba Msgr Kizito abadde Vicar General w’esaza ly’e Aliwal North  era nga Bwanamukulu wa Lutikko ya Aliwal North.

Yakolako nga Vicar w’ekigo kya St. Francis Xavier wakati wa 1997 ne 1998 n’afuuka Bwanamukulu w’ekigo kya  St. Augustine e Dordrecht wakati wa 1998 ne 2003. Abadde bwanamukulu wa Lutikko ya Aliwal okuva mu 2013. 

Esaza ly’e Aliwal lyatandikibwawo mu 2017 era lirimu ba Faaza 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza