TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baabano babbulooka b’e Mulago abateeka obulamu bw’abalwadde mu matigga

Baabano babbulooka b’e Mulago abateeka obulamu bw’abalwadde mu matigga

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2019

BAKAYUNGIRIZI abaali bamanyiddwa ennyo mu kutunda ettaka kyewuunyisa nti kati baatuuka dda ne mu malwaliro!

Kola1 703x422

Eddwaaliro ly’e Mulago bwe lifaanana.

BAKAYUNGIRIZI abaali bamanyiddwa ennyo mu kutunda ettaka kyewuunyisa nti kati baatuuka dda ne mu malwaliro!

Eby’obulamu bikwata kifo kya nkizo mu mirimu gyonna era abasawo abatendeke okutandika okujjanjaba abantu basooka kukuba birayiro n’okuwandiikibwa mu bibiina ebibalondoola.

Oyinza okwebuuza kiki ekyagwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago bakayungirizi gye beegiriisiza ng’ekisotta entula!

Eno gye batuuka okweyita abakugu abalongoosa abantu nga bwe babasikiriza okubakolako, babafulumya eddwaaliro okubaguza eddagala nga babakakasizza nti kkansa ajja kuwona.

Abalwadde bangi batuuka okugenda mu ddwaaliro nga basobeddwa oba nga bakomye, kale oyo yenna amaaso gwe gatuukirako ng’alabika okumuyamba asobola okumubuulira buli ekimukwatako alabe ng’ataasa obulamu.

Kiri Mulago eyo gy’otuuka n’osanga abantu abatudde mu bubinja olumu oyinza okulowooza nti bajjanjabi ate olulala n’olowooza nti bakozi mu ddwaaliro. Balinga be baasooka okutendekako ku ngeri gye balina okumatiza abalwadde.

Oyingira bakukanuulidde amaaso era oyo gwe balaba ng’ali mu mbeera mbi asobeddwa basooka kwefuula ng’abamuyambako.

Bali buli wamu okuva ku ggeeti, mu bifo awasimba mmotoka, ku mbalaza n’okutuuka munda mu waadi gye bajjanjabira abalwadde.

Bamatiza abalwadde okubaggyako ssente okuva mu nsawo zaabwe ezaawomoggose edda.

Wano Bukedde waasinzidde okulondoola abafere bano abalina emitima egibalinga empiima abatalina busaasizi nga basobola n’okukwakkula ssente ku muntu aleebaleebera ku mugo gw’entaana, omulwadde ne bw’abakutukira mu ngalo tebafaayo bawummuza wabbali nga banoonya omulala gwe banaggyako ssente.

Abamu ku balwadde e Mulago baategeezezza nti ekimu ku bibaviirako okuwaba ne batwalibwa babbulooka abateegera ebweru w’eddwaaliro, y’engeri olumu gye batafi ibwako nga bagenze mu ddwaaliro, abasawo nga batunuulira oyo yekka abawadde enguzi kw’ossa okukandaalirizibwa okufuna obujjanjabi ne babeera mu layini ate nga baba bagenzeeyo bali mu bulumi bungi.

Obweraliikirivu obunene buli ku ngeri babbulooka gye bawugula abalwadde ne batuuka n’okubatwala mu bifo gye baweebwa eddagala eriteeberezebwa nti lya bulabe eri obulamu bw’abantu abo. Olumu babawa n’eddagala ly’endwadde ze batalina, wabula nga batunuulidde kimu kufuna nsimbi.

OLUGENDO LWAFFE LWATANDISE BWE LUTI:

Ekiseera eky’ettuntu twagumbye ku kifo we bajjanjabira abalwadde bannalubiri. Olukuba lwatandise okufuuyirira naffe ne tulemerawo. Twabadde tukyali awo ng’omusajja omukulukulu agguse n’atutuukirira ng’alabika yabadde azze atulondoola okumala akaseera.

Yakutamye okubeera ng’atwetegereza ng’amaaso agayisa waggulu wa gaalubindi n’atubuuza oba twabadde tulina obuyambi bwe twetaaga. Yalabise ng’atunakuwaliddwaako ne tumutegeeza nti tuludde nga tuleeta omulwadde waffe owa Nnalubiri (sikoseero) kyokka tetufunye buyambi bwe twasuubira.

Yategeezezza nti alina Dokita gw’amanyi akolera ku kifo ekijjanjaba abalwadde b’emitima kyokka asobola n’okujjanjaba siikoseero era yatusabye 20,000/- amututuuseeko.

Twasoose kugaana kuzisasula n’agenda wabula yakomyewo oluvannyuma lw’essaawa eziwerako n’addamu okutubuuza kye tutuuseeko.

“Nze nsobola okumutwala mu kifo dokita w’atuula kubanga oli omusajja abeera n’abantu bangi bwe mubeera mukkirizza tugende bwe mulemwa leero omulundi omulala gwe naabasanga mujja kusasula ezisingako.”

Olwamazeeyo ebyo n’atuwa ennamba y’essimu 0772 903 568/0751143277 kwe tubeera tumunoonyeza olwo ye n’agenda.

Nnamba y’essimu yawandiisibwa mu mannya ga John Obwin gwe twazudde oluvannyuma nga musawo ku Uganda Heart Institute, okusinziira ku kibiina ekiwandiisa abasawo.

Baamuwandiika era nnamba ye eri 4486 ne nnamba ya layisinsi ye eri 15610. Twakubye ssimu nga tagikwata wabula oluvannyuma lw’ekiseera yagikutte ku Lwokutaano nga May 24.

Yatutegeezezza nti yabadde mu kkubo ng’agenda mu kyalo kyokka n’atulagira okuddamu okumukubirako ku Mmande nga May 27.

Bwe twakedde okumukubira nga takwata kyokka olweggulo ssaawa 11:27 yazzeemu n’atukubira n’atwetondera obutakwata ssimu nti ekiseera kyonna abadde alina omuntu gw’alongoosa ng’ali bubi.

“Ggw’ova e Ntebe?” Bwe yatubuuzizza era kino kyamaze okutukakasa nti tetuli ffekka waliwo n’abalala abamunoonya. Yatukakasa nti enkeera ajja kubeerawo akole ku mulwadde waffe kyokka yagaanye okutulabira mu ddwaaliro e Mulago n’atulagirira ku kalwaliro ke aka Alpha and Omega e Kaleerwe ku lw’e Ttula.

Yawulikise nga tafaayo nnyo kumanya kiki ekiruma omulwadde wabula okutusikiriza okutuuka ku kalwaliro ke.

Yatulagidde tumukubireko nga tetunnaba kulinya ttakisi ezitutwalayo n’atugamba nti ne kondakita wa takisi amanyiiwo bw’ova ku Avis odda ku Muduuma siteegi oluyitawo katono nnyo obeera otuuse.

Olwamubuuzizza erinnya lye tubeera tubuuza nga tutuuse n’ayanukula nti: buuza “Obwin John, naye tebamanyi nnyo linnya lyange ggwe bw’okuba nze nja kukunona. Akufumbira ey’omutwe naawe omufumbira ya bigere ne mwenkanya evvumbe... ffe twasazeewo kunoonya kalwaliro nga tetututteeyo mulwadde waffe.

Olwatuuse we yatulagiridde amaaso gaggukidde ku kalwaliro kubanga kali ku kkubo kwennyini. Kali wakati mu maduuka n’emidaala egitunda ebibala n’okwetoloolawo waliwo obulwaliro obunene okusinga ku kano.

Bawandiseeko ebigambo ebinene nti “Dokita abeerawo okuva ku ssaawa 4:00 ekiro” era kuliko nti dokita ono asobola okukuyunga ku ddwaaliro lya gavunenti n’ofuna obujjanjabi obusingawo.

Munda mwabaddemu omusajja ayambadde mu ngeri ya kisaazisaazi ng’ataddeko n’ekikooti.

Akasenge akookubiri mwe baatututte nga kalimu akatanda we bakeberera abalwadde, eddagala mu masa, akatanda akaliko eddiba erya leeza n’akuuma akapima ebbugumu ly’omubiri.

Yatutegeezezza nti ye akebera obulwadde obutonotono wabula bw’obeera oyagala dokita olina okukola naye enteekateeka nga tonnaba kujja oba okugenda e Mulago ku Heart Insitutute n’omulaba.

July 23, ku ssaawa 5:42 twabadde bataka ku kifo abalwadde b’emitima we batuukira e Mulago ne tukubira Obwin nga tumutegeeza nti twabadde ku kalwaliro ke ku lw’e Ttula ne batujuliza okujja e Mulago tumulabe.

Yeewuunyizza okubeera nga tumuguddeko n’agamba nti tulina okumukubira nga tetunnaba kusimbula kuva waffe n’atubuulira waali n’awokumusanga wabula yalabise nga kye twakoze tekyamusanyusizza.

Teyabadde mu ofi isi we twatuukidde ne batuwa we tutuulako wabweru okumulindako n’atusaba okulindako eddakiika 20.

Yabadde musajja mukulukulu, wa kitema atambula asaayirira nga n’omutwe gutobeseemu envi, enfaanana ye yabadde teyawukana nnyo n’ekifaananyi kye yateeka ku whatsApp.

 

 balwadde ku bitanda e ulago Abalwadde ku bitanda e Mulago

EBYABADDEWO NGA TUSISINKANYE:

Twalinnye amadaala okutuuka ku mwaliiro ogusooka ku kifo we balongooseza emitima wabula twamusabye twogere naye nga tabiyingizizzaamu muntu mulala n’asalawo tutuule mu lukuubo abalwadde we balindira abasawo.

Twamutegeezezza nti tulina omulwadde e Isingiro wabula kitwala ssente nnyingi okumutambuza.

Yabuuzizza omulimu gwe tukola ne gye tubeera twamuwadde bye tulabye n’alabika ng’akwatiddwaako n’ategeeza nti ye tayunga balwadde ku basawo balala e Mulago wabula alina kkiriniki eyiye asobola okumujjanjaba kubanga alina eddagala erirye.

“Abantu bagamba nti teri ddagala lya sikoseero naye abavuddeyo ne bajja ne mbakolako bawonye. Abaana abaali batasoma bwe mbajjanjabye kati bali ku ssomero basoma, abasawo abali ku ddwaaliro awo bakimanyi naye tebaagala kufi irwa ssente tebasindika eno balwadde,” Obwin bwe yannyonnyodde.

Yatutegeezezza n’abalwadde abalala b’azze ajjanjaba era wano we twamubuulizza ddi lwe tubeera tumuleetera owaffe. Yatutegeezezza nti engeri gy’ali ewala yabadde wakutuwa ddagala tulimutwalire.

Minisitule y’ebyobulamu etulaga nti abaana 25,000 bazaalibwa nga balina obulwadde bwa sikoseero.

Obwin yatutegeezeza nti ddoozi gy’agaba ya 500,000/- ne tumwegayirira n’akkiriza okugituwa ku 200,000/-.

Yatuwadde olukalala lw’endwadde endala z’ajjanjaba nga kuliko: kookolo w’omubyenda, omusujja gw’ekibumba, sukaali, omuntu abeera nga yeerabiralabira, omutwe omuteezi, ebibuno ebivunda, omusujja ogw’enkaka. Okufuluuta n’ensigo.

TUSASULIRA OBUJJANJABI:

Twamutegeezezza nti ssente zaabadde ku ssimu n’atugamba nti asobola bulungi okutufunira we tuziggyirako awatali bayinza kutubba.

Yatukulembedde ne tufuluma eddwaaliro n’atutuusa ku kifo tuggyeyo ssente ye adduke ku kalwaliro ke ku lw’e Ttula aleete eddagala. Twalemeddwa okuggyayo ssente ne tumukubira nti ssente zigaanye ne tukkaanya okuddamu okusisinkana enkeera ku Lwokuna nga July 25.

Twazzeemu okumukubira atukakase oba ddala eddagala linaakola, twamusabye waakiri asooke atuweeko ekitundu ku ddoozi tulabe bwe likola tulyoke tunone eddala.

Yatutegeezezza nti era y’ensonga lwaki twabadde twetaaga okusooka okutuula twogere kubanga lino eddagala lyerimu ly’awa buli muntu alina obuwadde obwo.

Awo yamenye abalwadde b’azze awonya nga n’abamu bakyamukubira essimu okumwebaza.

OBWIN ATUWA ENDAGIRIRO Y’OKUKOZESA EDDAGALA:

Olunaku lwe twalagaanye zaabadde ziwera ssaawa 4:40 ne tumukubira essimu gye yakwatiddewo n’atutegeeza nti tusisinkane mu kiseera kya ddakiika 30 wabula olwa jaamu twatuuse kuyiseeko essaawa nnamba era yatukubidde essimu nga mukambwe nnyo.

Twatuuse ne tukkaanya we tubeera tusisinkana twamusanzeewo ng’alina omukyala ali mu mmotoka gwe yabadde ayogera naye olwatulabye n’amusiibula.

Twagenze ku dduuka eritunda ebitabo n’ebikozesebwa mu ofiisi wano we yatutegeerezza nti omukazi gwe tulabye, omubaka wa Sudan mu Uganda ye yabadde amutumye eddagala.

Era n’abakozi ku ddwaliro ly’emitima bamugulako eddagala. Yalabise ng’ekifo akimanyi era n’abantu be twasanzeewo ng’asaaga nabo bulungi.

Twamusasudde 200,000/- wabula yatulabye nga tulinga abatamatidde n’asikayo obutabo obulimu nnamba z’essimu ez’abantu baagamba nti azze abaguza eddagala.

Yatuwandiikidde endagiriro ku ngeri gye tubeera tukozesaamu eddagala nga bw’atugamba nti obuzibu bw’abalwadde abamu olufunamu olungubanguba tebaddamu kukuba ssimu. Twamutegeezezza nti eddagala tugenda kuliteeka ku bbaasi balitwale e Mbarara. Kye twasigadde twebuuza biki by’atabuza eddagala ly’awa abalwadde era woosomera bino ng’abakugu bali mu kulyekebejja okuzuula ekituufu ekiririmu.

OMUKUGU ALINA KKIRINIKI EY’OBWANNANNYINI MU DDWAALIRO:

Nga tukola okunoonyereza kwaffe eyo gye twagwiiridde ku mukugu omulala alina kkiriniki ey’obwannannyini munda mu ddwaaliro.

Aliraanye St. Joseph’s Catholic Church, ku luggi kuliko akapande nti “St. Joseph Center for Holistic Wellness Consultancy, nga bifunziddwa nti JOSCHS nga wabbali waliwo ekirabo ky’emmere.

July 18 zaabadde zikunukkiriza okuwera ssaawa 4:00 nga tugguse ku JOSCHS, waabadde waggale wabula bbulooka n’atutegeeza nti tusobola okulindamu essaawa ng’emu bajja kuggulawo kubanga omukugu akola mu biseera bya ttuntu.

Wabula yatugambye nti ng’ono bw’ataliiwo ye yabadde asobola okututwala ku dokita omulala asingako.

Twasazeewo okuvaayo ne tuddayo olweggulo ku ssaawa 9:00, twasanze waggule nga waliwo abalwadde munaana abalinze.

Bonna baabadde bakadde naye nga beemulugunya n’omu yabadde atudde ku seminti wansi.

Baatutegeezeza nti engeri gye gwabadde omulundi gwaffe ogusooka okugendawo twabadde tulina okusasula 53,000/- nga tetunnaba kulaba musawo.

Emirundi egiddako tujja kusasulanga 20,000/- buli lwe tujja nga tekuli ddagala.

Twasasudde ne batuwa lisiiti eri ku nnamba 6533 eriko JOSCHs n’ebigambo St. Joseph’s chaplaincy.

Dr. olwazze abalwadde ne batandika okuyingira nga bwe bazze twayingidde ssaawa 11:34 ekifaananyi kye ekyabadde ku mmeeza kwe kwabadde erinnya lye Dr. Simon Peter Eyoku ono mukugu w’e Mulago mu by’okujjanjaba ensigo.

Twamutegeezezza nti ebigere bizimba yakebedde puleesa n’atubuuza ebibuuzo ebitukwatako.

Yatutegeezezza nti obuzibu buyinza okubeera nga buva ku ngeri nnyingi; puleesa okubeera wansi, obulwadde bw’okuzimba ebigere oba ensigo okubeera nga ndwadde.

Yatuwandiikidde eddagala erikendeeza okuzimba n’asemba tugende bakebere byonna bye yagambye bazuule ekituufu ekituluma. Baatulagiridde Deo ali ku ssimu 0700 0845 989 nti asobola okutukebera obulungi.

Yagenze okututemeratemera mu ssente ze tulina okusasula nga ziri 850,000/- wabula n’atusuubiza okukebera siriimu ku bwereere.

 

 

BAKAYUNGIRIZI abaali
bamanyiddwa ennyo mu kutunda
ettaka kyewuunyisa nti
kati baatuuka dda ne mu malwaliro!
Eby’obulamu bikwata kifo kya
nkizo mu mirimu gyonna era
abasawo abatendeke okutandika
okujjanjaba abantu basooka kukuba
birayiro n’okuwandiikibwa mu
bibiina ebibalondoola.
Oyinza okwebuuza kiki ekyagwa
mu ddwaaliro ekkulu e Mulago
bakayungirizi gye beegiriisiza
ng’ekisotta entula! Eno gye batuuka
okweyita abakugu abalongoosa
abantu nga bwe babasikiriza okubakolako,
babafulumya eddwaaliro
okubaguza eddagala nga babakakasizza
nti kkansa ajja kuwona.
Abalwadde bangi batuuka
okugenda mu ddwaaliro nga
basobeddwa oba nga bakomye, kale
oyo yenna amaaso gwe gatuukirako
ng’alabika okumuyamba asobola
okumubuulira buli ekimukwatako
alabe ng’ataasa obulamu.
Kiri Mulago eyo gy’otuuka
n’osanga abantu abatudde mu
bubinja olumu oyinza okulowooza
nti bajjanjabi ate olulala n’olowooza
nti bakozi mu ddwaaliro.
Balinga be baasooka okutendekako
ku ngeri gye balina okumatiza
abalwadde. Oyingira bakukanuulidde
amaaso era oyo gwe balaba ng’ali
mu mbeera mbi asobeddwa basooka
kwefuula ng’abamuyambako. Bali
buli wamu okuva ku ggeeti, mu bifo
awasimba mmotoka, ku mbalaza
n’okutuuka munda mu waadi gye
bajjanjabira abalwadde.
Bamatiza abalwadde okubaggyako
ssente okuva mu nsawo
zaabwe ezaawomoggose edda. Wano
Bukedde waasinzidde okulondoola
abafere bano abalina emitima egibalinga
empiima abatalina busaasizi
nga basobola n’okukwakkula
ssente ku muntu aleebaleebera ku
mugo gw’entaana, omulwadde ne
bw’abakutukira mu ngalo tebafaayo
bawummuza wabbali nga banoonya
omulala gwe banaggyako ssente.
Abamu ku balwadde e Mulago
baategeezezza nti ekimu ku bibaviirako
okuwaba ne batwalibwa
babbulooka abateegera ebweru
w’eddwaaliro, y’engeri olumu gye
batafi ibwako nga bagenze mu
ddwaaliro, abasawo nga batunuulira
oyo yekka abawadde enguzi kw’ossa
okukandaalirizibwa okufuna obujjanjabi
ne babeera mu layini ate nga
baba bagenzeeyo bali mu bulumi
bungi.
Obweraliikirivu obunene buli ku
ngeri babbulooka gye bawugula
abalwadde ne batuuka n’okubatwala
mu bifo gye baweebwa eddagala
eriteeberezebwa nti lya bulabe eri
obulamu bw’abantu abo. Olumu
babawa n’eddagala ly’endwadde ze
batalina, wabula nga batunuulidde
kimu kufuna nsimbi.
OLUGENDO LWAFFE LWATANDISE BWE
LUTI:
Ekiseera eky’ettuntu twagumbye
ku kifo we bajjanjabira abalwadde
bannalubiri. Olukuba lwatandise
okufuuyirira naffe ne tulemerawo.
Twabadde tukyali awo ng’omusajja
omukulukulu agguse n’atutuukirira
ng’alabika yabadde azze atulondoola
okumala akaseera.
Yakutamye okubeera
ng’atwetegereza ng’amaaso
agayisa waggulu wa gaalubindi
n’atubuuza oba twabadde tulina
obuyambi bwe twetaaga. Yalabise
ng’atunakuwaliddwaako ne tumutegeeza
nti tuludde nga tuleeta
omulwadde waffe owa Nnalubiri
(sikoseero) kyokka tetufunye buyambi
bwe twasuubira.
Yategeezezza nti alina Dokita
gw’amanyi akolera ku kifo ekijjanjaba
abalwadde b’emitima kyokka
asobola n’okujjanjaba siikoseero era
yatusabye 20,000/- amututuuseeko.
Twasoose kugaana kuzisasula
n’agenda wabula yakomyewo oluvannyuma
lw’essaawa eziwerako
n’addamu okutubuuza kye tutuuseeko.
“Nze nsobola okumutwala mu
kifo dokita w’atuula kubanga oli
omusajja abeera n’abantu bangi bwe
mubeera mukkirizza tugende bwe
mulemwa leero omulundi omulala
gwe naabasanga mujja kusasula
ezisingako.” Olwamazeeyo ebyo
n’atuwa ennamba y’essimu 0772
903 568/0751143277 kwe tubeera
tumunoonyeza olwo ye n’agenda.
Nnamba y’essimu yawandiisibwa
mu mannya ga John Obwin gwe
twazudde oluvannyuma nga
musawo ku Uganda Heart Institute,
okusinziira ku kibiina ekiwandiisa
abasawo. Baamuwandiika era
nnamba ye eri 4486 ne nnamba
ya layisinsi ye eri 15610. Twakubye
ssimu nga tagikwata wabula oluvannyuma
lw’ekiseera yagikutte ku
Lwokutaano nga May 24.
Yatutegeezezza nti yabadde mu
kkubo ng’agenda mu kyalo kyokka
n’atulagira okuddamu okumukubirako
ku Mmande nga May 27. Bwe
twakedde okumukubira nga takwata
kyokka olweggulo ssaawa 11:27
yazzeemu n’atukubira n’atwetondera
obutakwata ssimu nti ekiseera
kyonna abadde alina omuntu
gw’alongoosa ng’ali bubi.
“Ggw’ova e Ntebe?” Bwe
yatubuuzizza era kino kyamaze
okutukakasa nti tetuli ffekka waliwo
n’abalala abamunoonya. Yatukakasa
nti enkeera ajja kubeerawo akole ku
mulwadde waffe kyokka yagaanye
okutulabira mu ddwaaliro e Mulago
n’atulagirira ku kalwaliro ke aka
Alpha and Omega e Kaleerwe ku
lw’e Ttula.
Yawulikise nga tafaayo nnyo
kumanya kiki ekiruma omulwadde
wabula okutusikiriza okutuuka
ku kalwaliro ke. Yatulagidde tumukubireko
nga tetunnaba kulinya
ttakisi ezitutwalayo n’atugamba nti
ne kondakita wa takisi amanyiiwo
bw’ova ku Avis odda ku Muduuma
siteegi oluyitawo katono nnyo
obeera otuuse.
Olwamubuuzizza erinnya lye
tubeera tubuuza nga tutuuse
n’ayanukula nti: buuza “Obwin John,
naye tebamanyi nnyo linnya lyange
ggwe bw’okuba nze nja kukunona.
Akufumbira ey’omutwe naawe
omufumbira ya bigere ne mwenkanya
evvumbe... ffe twasazeewo
kunoonya kalwaliro nga tetututteeyo
mulwadde waffe.
Olwatuuse we yatulagiridde
amaaso gaggukidde ku kalwaliro
kubanga kali ku kkubo kwennyini.
Kali wakati mu maduuka n’emidaala
egitunda ebibala n’okwetoloolawo
waliwo obulwaliro obunene
okusinga ku kano. Bawandiseeko
ebigambo ebinene nti “Dokita
abeerawo okuva ku ssaawa 4:00
ekiro” era kuliko nti dokita ono
asobola okukuyunga ku ddwaaliro
lya gavunenti n’ofuna obujjanjabi
obusingawo.
Munda mwabaddemu omusajja
ayambadde mu ngeri ya kisaazisaazi
ng’ataddeko n’ekikooti. Akasenge
akookubiri mwe baatututte nga
kalimu akatanda we bakeberera
abalwadde, eddagala mu masa,
akatanda akaliko eddiba erya leeza
n’akuuma akapima ebbugumu
ly’omubiri.
Yatutegeezezza nti ye akebera
obulwadde obutonotono wabula
bw’obeera oyagala dokita olina okukola
naye enteekateeka nga tonnaba
kujja oba okugenda e Mulago ku
Heart Insitutute n’omulaba.
July 23, ku ssaawa 5:42 twabadde
bataka ku kifo abalwadde b’emitima
we batuukira e Mulago ne tukubira
Obwin nga tumutegeeza nti
twabadde ku kalwaliro ke ku lw’e
Ttula ne batujuliza okujja e Mulago
tumulabe.
Yeewuunyizza okubeera nga
tumuguddeko n’agamba nti
tulina okumukubira nga tetunnaba
kusimbula kuva waffe n’atubuulira
waali n’awokumusanga wabula
yalabise nga kye twakoze tekyamusanyusizza.
Teyabadde mu
ofi isi we twatuukidde ne batuwa we
tutuulako wabweru okumulindako
n’atusaba okulindako eddakiika
20. Yabadde musajja mukulukulu,
wa kitema atambula asaayirira
nga n’omutwe gutobeseemu envi,
enfaanana ye yabadde teyawukana
nnyo n’ekifaananyi kye yateeka ku
whatsApp.
EBYABADDEWO NGA TUSISINKANYE:
Twalinnye amadaala okutuuka
ku mwaliiro ogusooka ku kifo we
balongooseza emitima wabula twamusabye
twogere naye nga tabiyingizizzaamu
muntu mulala n’asalawo
tutuule mu lukuubo abalwadde we
balindira abasawo. Twamutegeezezza
nti tulina omulwadde e Isingiro
wabula kitwala ssente nnyingi okumutambuza.
Yabuuzizza omulimu gwe tukola
ne gye tubeera twamuwadde bye
tulabye n’alabika ng’akwatiddwaako
n’ategeeza nti ye tayunga balwadde
ku basawo balala e Mulago wabula
alina kkiriniki eyiye asobola okumujjanjaba
kubanga alina eddagala
erirye.
“Abantu bagamba nti teri ddagala
lya sikoseero naye abavuddeyo
ne bajja ne mbakolako bawonye.
Abaana abaali batasoma bwe mbajjanjabye
kati bali ku ssomero basoma,
abasawo abali ku ddwaaliro awo
bakimanyi naye tebaagala kufi irwa
ssente tebasindika eno balwadde,”
Obwin bwe yannyonnyodde.
Yatutegeezezza n’abalwadde
abalala b’azze ajjanjaba era wano
we twamubuulizza ddi lwe tubeera
tumuleetera owaffe. Yatutegeezezza
nti engeri gy’ali ewala yabadde
wakutuwa ddagala tulimutwalire.
Minisitule y’ebyobulamu etulaga
nti abaana 25,000 bazaalibwa nga
balina obulwadde bwa sikoseero.
Obwin yatutegeezeza nti ddoozi
gy’agaba ya 500,000/- ne tumwegayirira
n’akkiriza okugituwa ku
200,000/-. Yatuwadde olukalala
lw’endwadde endala z’ajjanjaba nga
kuliko: kookolo w’omubyenda, omusujja
gw’ekibumba, sukaali, omuntu
bw’abalwadde abamu olufunamu
olungubanguba tebaddamu kukuba
ssimu.
Twamutegeezezza nti eddagala
tugenda kuliteeka ku bbaasi balitwale
e Mbarara. Kye twasigadde
twebuuza biki by’atabuza eddagala
ly’awa abalwadde era woosomera
bino ng’abakugu bali mu kulyekebejja
okuzuula ekituufu ekiririmu.
OMUKUGU ALINA KKIRINIKI
EY’OBWANNANNYINI MU DDWAALIRO:
Nga tukola okunoonyereza kwaffe
eyo gye twagwiiridde ku mukugu
omulala alina kkiriniki ey’obwannannyini
munda mu ddwaaliro.
Aliraanye St. Joseph’s Catholic
Church, ku luggi kuliko akapande
nti “St. Joseph Center for
Holistic Wellness Consultancy,
nga bifunziddwa
nti JOSCHS nga wabbali
waliwo ekirabo ky’emmere.
July 18 zaabadde
zikunukkiriza okuwera
ssaawa 4:00 nga tugguse
ku JOSCHS, waabadde
waggale wabula bbulooka
n’atutegeeza nti tusobola
okulindamu essaawa
ng’emu bajja kuggulawo
kubanga omukugu akola
mu biseera bya ttuntu.
Wabula yatugambye nti
ng’ono bw’ataliiwo ye
yabadde asobola okututwala
ku dokita omulala
asingako.
Twasazeewo okuvaayo
ne tuddayo olweggulo ku
ssaawa 9:00, twasanze
waggule nga waliwo
abalwadde munaana
abalinze. Bonna baabadde
bakadde naye nga
beemulugunya n’omu
yabadde atudde ku seminti
wansi. Baatutegeezeza
nti engeri gye gwabadde
omulundi gwaffe
ogusooka okugendawo
twabadde tulina okusasula
53,000/- nga tetunnaba
kulaba musawo.
Emirundi egiddako tujja
kusasulanga 20,000/- buli
lwe tujja nga tekuli ddagala.
Twasasudde ne batuwa
lisiiti eri ku nnamba 6533
eriko JOSCHs n’ebigambo
St. Joseph’s chaplaincy.
Dr. olwazze abalwadde ne
batandika okuyingira nga
bwe bazze twayingidde
ssaawa 11:34 ekifaananyi
kye ekyabadde ku
mmeeza kwe kwabadde
erinnya lye Dr. Simon Peter
Eyoku ono mukugu w’e
Mulago mu by’okujjanjaba
ensigo.Twamutegeezezza
nti ebigere bizimba yakebedde
puleesa n’atubuuza ebibuuzo
ebitukwatako. Yatutegeezezza nti
obuzibu buyinza okubeera nga buva
ku ngeri nnyingi; puleesa okubeera
wansi, obulwadde bw’okuzimba
ebigere oba ensigo okubeera
nga ndwadde. Yatuwandiikidde
eddagala erikendeeza okuzimba
n’asemba tugende bakebere byonna
bye yagambye bazuule ekituufu
ekituluma.
Baatulagiridde Deo ali ku
ssimu 0700 0845 989 nti asobola
okutukebera obulungi. Yagenze okututemeratemera
mu ssente ze tulina
okusasula nga ziri 850,000/- wabula
n’atusuubiza okukebera siriimu ku
bwereere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.