TOP

Ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu afudde

By Cathy Lutwama

Added 20th November 2019

Ssentebe w'akakiiko k'eddembe lyobuntu afudde kikutuko!

Meddiekaggwa 703x422

Meddie Kaggwa

Bya Catherine Lutwama

Ssentebbe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu, Meddie Kaggwa afudde. Kaggwa asirikidde ku siteeringi ya mmotoka ye mu bitundu by’e Mulago ekya ya leero bwabadde avuga okugenda okukola.

Emmotoka bamenye mmenye okumuggyamu n’addusibwa ku ddwaliro lya Case gye bakakasirizza nti afudde.

mugenzi aggwa ku ddyo ngali nomuwala eegulo ku mukolo gwa  gwe yasembyeyo okubaakoOmugenzi Kaggwa (ku ddyo) ng'ali n'omuwala eegulo ku mukolo gwa UNICEF gwe yasembyeyo okubaako.

 

Kaggwa waafiiridde abadde ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission okumala emyaka munaana.

Yaliko kamisona ow’enjawulo ku nsonga z’abasibe n’embeera zaabwe ku kakiiko k’Africa ak’eddembe ly’obuntu. Alina diguli ya Masters mu mateeka okuva mu National University of Ireland, diguli mu mateeka okuva e Makerere ne dipulooma y’amateeka okuva ku Law Development Centre.

Yaliko omubaka wa palamenti owa Kawempe South, era mmemba wa EastAfrican Legislative Assembly era yakiika ne mu Counstituent Assembly eyabaga ssemateeka wa 1995. Abadde musajja mufumbo alina n’abaana.

Asuubirwa okuziikibwa leero e Mpigi ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...