TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Siyinza kuva mu ofiisi ya KCCA lwa bigambo - Kitaka

Siyinza kuva mu ofiisi ya KCCA lwa bigambo - Kitaka

By Hannington Nkalubo

Added 20th November 2019

Kitaka yakedde mu ofiisi ye ku Mmande gye yavudde n’agenda ku mukolo gye yasanze Loodi Meeya Erias Lukwago kyokka tebaayogedde ku byasaliddwaawo mu lukiiko olwatudde wiiki ewedde bakkansala mwe baamugobedde.

Gd 703x422

Loodi meeya Lukwago ne Kitaka ku mukolo gwa UNCEF kwe yatongolezza kawefube w’okuyamba abaana abawala.

AKOLA nga dayirekita wa Kampala, Ying. Andrew Kitaka agambye nti tayinza kuva mu ofiisi olw’ebigambo ebyogerwa bannabyabyfuzi n’ategeeza nti oluvannyuma lw’okukola ku bajeti ya KCCA, kati obwanga abwolekezza kaweefube w’okuyonja n’okugogola ekibuga.

Kitaka yategeezezza nti ebyokumugoba byamugudde nkoto, era akakkalabya mirimu. Yagambye nti asula n’okusiiba ng’alowooleza kibuga kukikulaakulanya naddala ng’atereeza enguudo, amataala ga sola n’okuzimba emyala mu bitundu ebikosebwa ennyo amazzi.

Kyokka Lukwaago yagambye nti okusinziira ku bbaluwa ya ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu, Ralph Ochan gye yawandiikira minisita wa Kampala Beti Kamya nga September 9, 2019 erambika bweti;

Yalaze nti okulondebwa kwa Kitaka tekwali kwa nkomeredde wabula kwalina kukoma ku myezi mukaaga.

Yalaze nti ekiseera ky’okukola emirimu mu mateeka kyaggwa kati minisita ateekwa okuddamu asabire Kitaka ebbanga lya mwaka gumu ng’akola mu ofiisi nga bwe balindirira okumukakasa.

Lukwago eggulo yategeezezza Bukedde nti Kitaka wa ddembe okukola byakola n’okugenda mu maaso n’okubeera mu ofiisi naye akimanye nti amateeka gamugaana okukola emirimu gya dayirekita wa Kampala okuggyako ng’akakkasiddwa.

Lukwago yagambye nti okugaana okumukakasa oba okulonda omuntu omuggya abanene bakikozesa nga kakodyo okumukuumira mu kifo ekyo nga kye bamulagira ky’akola kubanga tasobola kubagyemera olw’okutya okugobwa.

Ku mbalirira ya KCCA, yagambye nti bagaanyi okugiyisa kubanga baabadde bagenda kumenya amateeka ng’omuntu yekka akkirizibwa okugibaanjulira ateekwa kuba dayirekita wa KCCA kyokka ekiseera kya Kitaka kyaggwaako dda.

Lukwago yagambye nti yakizudde nti embalirira gye baabadde bagenda okuyisa mu bukyamu teyamba Bannakampala kubanga ekoleddwa ng’esinga kwesigamizibwa ku byabufuzi ebiyamba pulezidenti Museveni.

Lukwago yagambye nti Kitaka wa ddembe okuddayo mu kifo kye ekya yinginiya w’enguudo kye yayingirirako mu KCCA oba okuba nga yaakulira okubalirira ennyingiza n’enfulumya y’ekitongole.

Kyokka Kitaka yagambye nti alina ebbaluwa ezimukakasa nga ‘Chief Accounting officer’ wa Kampala okuva ewa ssenkaggale Keith Muhakanizi (akulira eggwanika ly’eggwanga) era emirimu agikola mu mateeka kyokka Loodi Meeya ebiseera ebimu amateeka agataputira ludda lumu ne yeerabira nti waliwo amalala agafuga ensimbi za Gavumenti.

Yagambye nti wadde Lukwago yatapuse eteeka nga bw’ayagala, ye atudde mu ofiisi era akola mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.