TOP

Agambibwa okufera obukadde 15 bamusibye

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2019

SHADIA Nakiwala 29, nnannyini kkampuni ya HUNT International Labour Suppliers Ltd etwala abakozi mu mawanga g’ebweru asuze Luzira lwa bukadde 15 z’agambibwa okuggya ku muntu mu lukujjukujju ng’amusuubizza okumutwala ku kyeyo.

United 703x422

Twine omusuubuzi w’omu kikuubo gwe baafeze. Nakiwala agambibwa okufera ng’ali ku kkooti e Makindye.

Nakiwala omutuuze w’e Makindye ku Madirisa Zzooni yakwatiddwa poliisi y’e Katwe n’oluvannyuma n’atwalibwa mu kkooti e Makindye n’asimbibwa mu maaso g’omulamuzi Allan Mpirwe Gakyaro eyamusomedde omusango.

Kyategeezeddwa nti nga April 24, 2019, Justus Twine yawa Nakiwala obukadde 15 n’ekigendererwa ky’okumuguza emigabo mu kkampuni ye eya HUNT erina ofiisi e Zzana- Kikumbi.

Kyokka Twine oluvannyuma yakizuula nti kkampuni tewandiisibwanga mu mateeka, wadde nga yali eriko abantu b’eggyako ssente.

Buli lwe yasabanga ssente nga bamugamba alindeko. Yalabye tebalina kye bamuwa kwe kuloopa ku poliisi.

Wadde nga Nakiwala omusango yagwegaanye, tekyalobedde mulamuzi kumusindika Luzira okutuusa nga November 29, 2019 lw’anaakomezebwawo mu kkooti.

Ivan Nimusiima eyali akola ne Nakiwala ye yasooka okukwatibwa wiiki ewedde n’asindikibwa e Luzira.

Eggulo yakomezeddwaawo mu kkooti ne babasomera bombi emisango gye gimu gye beegaanye.

Nakiwala bwe yabadde tannatwalibwa mu kkooti, yategeezezza omusasi nti yakola kkampuni etwala abantu ebweru, kyokka Gavumenti y’emulwisizza okumuwa olukusa wadde nga ssente z’okuwandiisa kkampuni yazisasula dda.

Yategeezezza nti Twine bwe yalaba ng’aggya ku bantu ssente n’alowooza nti bazimulyako ate nga naye yali abayunga ku kkampuni endala ezirina olukusa okutwala abakozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...