TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde mu kkooti

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2019

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.

Kawesi 703x422

Munnamateeka Baryamusiima (mu kkooti) ng'ali n'abamu ku bavunaanibwa okwenyigira mu kutemula Kaweesi. Mu ssaati ey'ebikuubo ye yategeerekeseeko erya Shafic ng'amuttottorera ennaku gye bayitamu.amawuli

JAMES MAGALA

ABASAJJA abasatu abali ku musango gw'okutta eyali amyuka Ssaabaduumizi wa Poliisi, omugenzi Andrew Felix Kaweesi bazzeemu okweyanjula mu Kkooti Enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw'ensi yonna esangibwa e Kololo.

Bano nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates, beeyanjudde mu kkooti okutuukiriza obumu ku bukwakkulizo obwabaweebwa kkooti ku musango ogubavunaanibwa nga kigambibwa nti beenyigira mu kutemula omugenzi Kaweesi.

Kinajjukirwa nti bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.

Munnamateeka waabwe, Turyamusiima yagambye nti wadde ng’abantu be bakyalinamu obukosefu ng’era bakyafuna obujjanjabi, basobodde okweyanjula mu kkooti okulaga obuwulize bwabwe era nga baagala bafune obwenkanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...