TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi Bangirana okuva mu ofiisi

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi Bangirana okuva mu ofiisi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2019

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa mu poliisi, Godfrey Bangirana okuva mu ofiisi.

Godfreybangirana678381 703x422

Omulamuzi Henrieta Wolayo era nga ye mumyuka w’akulira kkooti eziwozesa emisango gy’engassi ye yayisizza ekiragiro ekigoba Bangirana mu ofiisi addeko ebbali ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Ekiragiro kino yakiwadde ggulo.

Bangirana ekisanja kye kyaggwaako nga July 16, 2019 omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martins Okoth Ochola n’amuwandiikira ebbaluwa ng’amulagira ave mu ofiisi.

Kyokka omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ensonga z’omunda Dr. Benon Mitanda n’awandiika ebbaluwa ng’alagira Bangirana okusigala mu ofiisi.

Kino kyaleetawo okukoonagana era abavubuka ba DP abamu ne baddukira mu kkooti nga baagala eragire Bangirana ave mu ofiisi.

Nga bakulembeddwa Isaac Maddo Ssaabawandiisi wa UYD, abavubuka bano baatwala omusango mu kkooti nga baagala eteeke ekiragiro kya Ochola mu nkola esazeemu ebbaluwa ya Mitanda era okuva olwo, babadde battunka.

Eggulo, Omulamuzi lwe yawadde ensala ye mu kusaba okwakolebwa aba UYD era n’alagira Bangirana adde ebbali.

Mu mpaaba aba UYD baasaba abakulira poliisi obutazza ndagaano ya Bangirana buggya ne bagattako nti, baagala ave ne mu ofiisi bamuggyeko n’omusaala ogubadde gumuweebwa, emmotoka n’ebigenderako byabadde afuna nga dayirekita mu poliisi.

Bwe yabadde awa ensala ye, Omulamuzi Wolayo yagambye nti, kyakakasiddwa nti Bangirana endagaano ye yaggwaako era tezzibwanga buggya.

Yasinzidde ku bbaluwa ebbiri ezaawandiikibwa ku lunaku lwe lumu ng’emu eva wa Ochola ate endala ng’eva wa Mitanda nga zonna zikakasa nti endagaano ya Bangirana yali yaggwaako.

Wadde ng’eya Ochola yali emulagira kuva mu ofiisi ate eya Mitanda yali emutegeeza nti eky’okumwongera endagaano kyali kikolebwako nga tewali nsonga lwaki ava mu ofiisi.

Omulamuzi mu nsala ye era yategeezezza nti, Bangirana okusigala mu ofiisi nga talina ndagaano kwakolera mirimu kigenda kufiiriza Gavumenti n’alagira nti, addeko ebbali ng’omusango omukulu ogwawaabwa bwe gugenda mu maaso oba okutuusa nga kkooti eyisizza ekiragiro ekirala ekimusigaza mu ofiisi.

Kyokka, eky’okuwaliriza poliisi obutazza buggya ndagaano ya Bangirana ekyabadde kisabiddwa oludda oluwaabi, Omulamuzi yakigaanye n’agamba nti, tasobola kuteeka bukwakkulizo ku poliisi ng’ekola emirimu gyayo egiri mu mateeka.

Ebizibu bya Bangirana byatandika mwaka guwedde omuntu omu bwe yavaayo n’awandiikira Kaliisoliiso wa Gavumenti ebbaluwa ng’amusaba anoonyereze ku ofiisa wa poliisi ono gwe yali alumiriza okukozesa obubi ofiisi ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata