TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkondomu ezisoba mu kakadde 1 ezirimu ebituli zisattizza abazikozesa

Kkondomu ezisoba mu kakadde 1 ezirimu ebituli zisattizza abazikozesa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2019

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa.

5216 703x422

Bannayuganda abettanira
kkondomu za Life Guard
baweereddwa amagezi okwekenneenya
kkondomu ze bagula nga
tebannazikozesa.
Okulabulwa kuno kukoleddwa
ekitongole kya Marie Stopes
Uganda era nga bano bategeezezza
nga bwe waliwo kkondomu
za bika bibiri ezirambiddwaako
ennamba okuli “19040205 ne
19050105” ezitatuukana na
mutindo eziri ku katale Bannayuganda
ze balina okugenderera.
Dr. Carole Ssekimpi akulira Marie
Stopes Uganda yagambye nti
ebika ebibiri bino bwe byazuuliddwa
nga tebituukana na mutindo
gwa kkondomu ezirina okubeera
ku katale n’asaba buli muntu
yenna alina kkondomu eziteereddwaako
ennamba ezo okuzibatwalira,
bamuddize ssente ze.
Kino kiddiridde ekiwandiiko
ekyafulumizibwa ekitongole kya
National Drug Authority nga
kiragira Marie Stopes okukuh−
haanya kkondomu zino bunnambiro
okuva mu Bannayuganda nga
October 30, 2019.
Dr. Medard Bitekyereza okuva
mu kitongole ekivunaanyizibwa
ku mutindo gw’eddagala eriteekebwa
ku katale ekya National
Drug Authority yagambye nti,
bwe baakebedde kkondomu zino
baazudde ng’ezimu zirimu ebituli
so ng’endala zisobola okwabika
singa omuntu abeera azikozesa
ekintu ekiyinza okuteeka oyo
abeera azikozesezza mu katyabaga
k’okufuna olubuto n’endwadde
z’ekikaba omuli ne siriimu.
Ono yannyonnyodde nti, bamaze
okuyisa ebiragiro eri ekitongole
kya Marie Stopes okulaba
nga baffeffetta kkondomu zino
okuva mu bitundu yonna gye
baazigaba n’oluvannyuma babawe
lipooti ku mmeka ze basobodde
okununula n’ezo ezibadde
zimaze okweyambisibwa abantu
olwo bamanye eky’okukolera
abantu.
Dr. Ssekimpi yayongeddeko
nti mu kiseera kino bakolaganira
wamu n’ekitongole kya National
Drug Authority okukakasa nga
kkondomu ezitatuukanye na mutindo
teziddamu kufulumizibwa
ku katale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....