TOP

Taata yasooka kunkolako byawongo n’ansobyako

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2019

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera eddagala.

Son 703x422

Patricia eyasobezebwako.

Patricia (eddala lisirikiddwa) y’omu ku bawala abaafuna ekizibu kino kyokka ate abooluganda lwe bwe yabategeeza ku kizibu ky’afunye ne bamukuutira obutayogera. Ebyamutuukako abinyumya bwati:

Maama ng’ayawukanye ne taata nga yali makanika e Bwaise, yafuna omusajja omulala. Maama yampeerera okutuuka mu P6 naye olw’obutaba na busobozi, yansindika ewa taata naye atandikire awo.

Mu January w’omwaka guno (2019) nava e Kyanamukaka- Masaka gye twali tubeera ne maama ne nzija e Kampala ewa taata.

Natuukira Nsambya ewa Ssenga naye eyampeereza ewa taata e Katooke –Wamala mu munisipaali y’e Nansana –Wakiso. Taata bwe yandaba, yandaga nti musanyufu kuba yali yakoma okundabako mu 2013. Awaka na

sangawo muka kitange ne bato bange abalala basatu.

Maama yandaga ekisenge awokusulanga ne bato bange. Nali sinnategeera bya waka, nga simanyi nti tewali muntu asiibawo, wabula nakitegeera bukedde bwe nazuukuka ku makya nga maama ne bato bange bonna tebaliiwo.

TAATA ANKABASSANYA

Taata yampita nga nkyali mu buliri nange kwe kumutegeeza nga bwe nali nkyayambala. Yambuuza nti, “oyambala biki? jangu ggwe eri!” Amangu ddala taata yali amaze okutuuka mu kisenge mwe nali nsuze, n’ahhamba neebikkuleko bulangiti.

Yandagira nneebake kyabugazi. Yalina eddagala ery’ekinnansi mu ngalo ze n’ahhamba nti “gamba nti nkomyewo awaka” nange saali mubi ne mbiddamu. Yasooka kunsonseka ddagala mu bitundu byange ebyekyama oluvannyuma n’ankozesa.

Ng’amalirizza, yambuuza oba nnina kyempulira kwe kumuddamu nti sirina. Olunaku olwo nasiiba mu buliri nga nkaaba. Muka kitange bwe yakomawo n’ambuuza 

kyembadde ne mmugamba nti ndi mulwadde.

Okuva ewa Ssenga, taata yambuuza kye njagala ne mmugamba nti njagala kukola kyokka ye n’ahhamba nsooke kusoma ebyenviiri ndyoke nkole. Taata yennyini ye yansasulira ssente ku ssomero lya Vision Uganda e Wamala gye nakugukidde mu byenviiri.

MBUULIRAKO MUKA KITANGE

Oluvannyuma lw’okufuna entiisa munze, nanoonya gwe mbuulirako ku kyali kintuuseeko nga simulaba okuggyako maama ow’awaka. Bwe namugamba ebyatuukawo taata teyamugaanira kyokka n’ankuutira okusirika kuba taata yali ayinza okwecanga n’atansasulira ffiizi.

Yambuuza nti, oyinza okudduka n’ogenda mu bassenga bo? Oluvannyuma maama yampa ssente ne hhenda e Bulenga ewa jjajja azaala maama naye mbimuyitiremu.

Jjajja yahhamba nti bwe nnaaswaza taata, ayinza okunkolimira ne nfuna obuzibu mu maaso.

Yahhamba nzireyo awaka mmalirize okusoma nti mmulekere Katonda y’amanyi ky’alimusasula. Oluvannyuma lw’emyezi etaano, taata yakomawo gyendi ng’ayagala tukiddemu.

Yahhamba nti, “nkomyewo tuddemu kye twakola luli.” Taata yasigala nga buli lw’angwikiriza nga tuli ffekka awaka, abeera ayagala kunsobyako.

Naddamu ne mbuulirako maama, n’ahhamba nti tukeerenga nnyo kumakya bw’abeera agenda okukola nange hhende ku ssomero.

Taata abadde agera nga maama agenze ng’ampita mu kisenge kye n’ansobyako. 

Olumu mbadde mpalirizibwa okukeera ku ssomero wadde nga ffe abasoma ebyemikono tubadde tetukeera kusoma naye nga nkeera okusobola okwetegula taata.

Ebiseera bye mbadde siri ku ssomero nga nnina kugenda mu mikwano gyange nga bwe nninda maama akomewo awaka. Nalabye embeera eno ngikooye ne nsalawo okubuulirako mukwano gwange bwe tusoma naye eyabuuliddeko abamu ku baliraanwa abaategeezezza ku bakulembeze ba LC.

Simanyi oba ndi mulamu kubanga okuva taata lwe yatandika okunkozesa, sigendangako mu ddwaaliro kufuna bujjanjabi. Nandyagadde okunkebera n’okufuna engeri gye nva awaka ntandike obulamu obupya naye sirina buyambi.

Ekirooto kyange kya kutandikawo bizinensi. Ssinga nsangibwa nga taata yansiiga akawuka akaleeta siriimu, ndi mwetegefu okutandikirawo eddagala kubanga obulamu mbwagala.

Ekigendererwa kyange si kusibisa kitange, wabula njagala nnyambibwe nve awaka.

BAWABUDDE KU BAKAZI ABANOBA NE BALEKERA ABASAJJA ABAANA

Shifrah Owomugisha ow’abakyala e Kazo mu Central zooni 1 yagambye nti, ssinga omukazi omanya nti obufumbo bugaanyi, waakiri funa omuntu gwe weesiga gw’oba olekera omwana wo. Abakyala abagenda mu bufumbo n’abaana, kyamutawaana kuba omusajja gy’obeera ofumbiddwa ayinza obutafunamu nsonyi kukabassanya mwana wo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...