TOP

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza abazikozesa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2019

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa.

Condoms 703x422

Kondomu.

Bya PROSSY NABABINGE
 
Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa.
 
Okulabulwa kuno kukoleddwa ekitongole kya Marie Stopes Uganda era nga bano bategeezezza nga bwe waliwo kkondomu za bika bibiri ezirambiddwaako ennamba okuli “19040205 ne 19050105” ezitatuukana na mutindo eziri ku katale Bannayuganda ze balina okugenderera.
 
Dr. Carole Ssekimpi akulira Marie Stopes Uganda yagambye nti ebika ebibiri bino bwe byazuuliddwa nga tebituukana na mutindo gwa kkondomu ezirina okubeera ku katale n’asaba buli muntu yenna alina kkondomu eziteereddwaako ennamba ezo okuzibatwalira, bamuddize ssente ze.
 
Kino kiddiridde ekiwandiiko ekyafulumizibwa ekitongole kya National Drug Authority nga kiragira Marie Stopes okukungaanya kkondomu zino bunnambiro okuva mu Bannayuganda nga October 30, 2019.
 
Dr. Medard Bitekyereza okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’eddagala eriteekebwa ku katale ekya National Drug Authority yagambye nti,
bwe baakebedde kkondomu zino baazudde ng’ezimu zirimu ebituli so ng’endala zisobola okwabika singa omuntu abeera azikozesa ekintu ekiyinza okuteeka oyo
abeera azikozesezza mu katyabaga k’okufuna olubuto n’endwadde z’ekikaba omuli ne siriimu.
 
Ono yannyonnyodde nti, bamaze okuyisa ebiragiro eri ekitongole kya Marie Stopes okulaba nga baffeffetta kkondomu zino okuva mu bitundu yonna gye baazigaba n’oluvannyuma babawe lipooti ku mmeka ze basobodde okununula n’ezo ezibadde
zimaze okweyambisibwa abantu olwo bamanye eky’okukolera abantu.
 
Dr. Ssekimpi yayongeddeko nti mu kiseera kino bakolaganira wamu n’ekitongole kya National Drug Authority okukakasa nga kkondomu ezitatuukanye na mutindo teziddamu kufulumizibwa ku katale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...