TOP

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2019

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi byeyambise ebyuma ebyomulembe ebitangaaza ebiri munda mu kkonteyina mwe bitambuzibwa.

Kola 703x422

Pulezidenti Museveni (wakati) ng’atuuka mu lukuhhaana. Ku kkono ye Akol akulira URA ate ku ddyo, minisita Kasaija.

PULEZIDENTI Museveni awabudde
ebitongole by’omusolo
ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi
ebikukusibwa. Abiwadde
amagezi byeyambise ebyuma
ebyomulembe ebitangaaza ebiri
munda mu kkonteyina mwe
bitambuzibwa.
“Nga sinnafuuka Pulezidenti
wa Uganda, nalina bizinensi
ze nakolanga omuli okukukusa
ebyokulwanyisa okuva
mu mawanga ag’omuliraano
nga mbitambuliza mu mmotoka
ezisaabaza amajaani
ne mbiyisa ku baserikale ku
nsalo. N’abakukusa ebyamaguzi
ensangi zino mwe bali abakola
bwe batyo,” Museveni bwe
yagambye.
Bino yabyogedde aggulawo
olukuhhaana lw’ebitongole
by’omusolo ku lukalu lwa Africa
olwa ‘African Tax Administration
Forum (ATAF) ku Serena Hotel
mu Kampala ku Lwokubiri.
Yagambye nti guno omulembe
gwa ‘digital’ noolwekyo
ebitongole by’ebyemisolo nabyo
birina okukyusa mu bukodyo
bw’okusolooza omusolo okuyimirizaawo
amawanga gaabyo.
Bwe yabuuzizza ebyuma
ebitangaaza mmotoka oba
kkonteyina z’ebyamaguzi URA
by’erina ne bamuddamu nti
babadde balina bina kyokka
kati bawezezza 17. Uganda
erina ebifo 43 ku nsalo zaayo
n’amawanga amalala ebyamaguzi
we biyitira. Yabasabye
babyongereko kuba tebimala.
ANENYEZZA URA
Museveni yanenyezza ekitongole
ky’ebyemisolo mu ggwanga
ekya URA olw’obunafu mu
kulondoola bannannyini bizimbe
n’abapangisa ababbirira
omusolo.
Mu ngeri yeemu yawabudde
ebitongole by’omusolo ku bulabe
obuli mu kuggya omusolo ku
bantu abaavu omuli abatunda
kasooli ne muwogo omwokye
ku nguudo. Yagambye nti kino
kikyamu.
Ate minisita w’ebyensimbi
Matia Kasaija yasabye ebitongole
by’ebyomusolo okubeera
ebikalabakalaba okusobola
okukuhhaanya ssente.
Ye Doris Akol, akulira
URA yagambye nti, olukuh−
haana luno lugendereddwaamu
okutema empenda okulaba
engeri omusolo gye gusoloozebwa
n’okutemera awamu
empenda okwahhanga obuzibu
bwe basanga mu mulimu guno.
Amawanga 48 ge gaakiikiriddwa
mu lukuhhaana luno
olw’ennàku essatu.
Dickson Kateshumbwa,
kamisona avunaanyizibwa
ku byamaguzi ebiyingizibwa
n’okufuluma mu ggwanga
yagambye nti bukya batandika
kutuuza nkuhhaana nga
zino emyaka kkumi emabega,
ensolooza y’omusolo eyongedde
okulongooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.