TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza: Kkwiini awummuzza mutabani we

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza: Kkwiini awummuzza mutabani we

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2019

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo era gw’asinga okwagala ng’entabwe eva ku bikolwa bye eby’ekitigi, obwonoonefu n’obuseegu.

Kwiini 703x422

Kkwiini n’Omulangira Andrew gwe yawummuzza olw’okuswaza olulyo Olulangira mu Bungereza.

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo era gw’asinga okwagala ng’entabwe eva ku bikolwa bye eby’ekitigi, obwonoonefu n’obuseegu.

Kkwiini Elizabeth II nga yenna tasalikako musale yayise mutabani we Omulangira Andrew Albert Christian Edward 59, mu lubiri lwe olukulu olw’e Buckingham n’amuggyako obuvunaanyizibwa bwonna bwe yali yamuwa.

Amugaanyi okuddamu okukola emirimu gy’Obwakabaka era n’amuggyako n’omusaala ogwa pawunda 20,750 (mu za Uganda obukadde 93) buli mwezi.

Okutuuka okuva mu mutabani we, agambibwa nti gw’asinga okwagala mu baana be bonna, Kkwiini yamaze kwesanga mu kaseera akazibu ng’obwakabaka bwa Bungereza bwongedde okukubwamu ebituli olw’enziro Omulangira Andrew gy’ayongedde okubusiiga so nga busangiddwa n’ebizibu naddala bannansi ba Bungereza okwebuuza oba mu kyasa kino bukyalina omugaso.

Emberebezi evudde ku Mulangira Andrew okugenda ku ttivvi okugezaako okulongoosa erinnya lye ku nkolagana ye n’essajja li nnaggagga likaggwensonyi era limulyabuto eriyitibwa Jeffrey Edward Epstein eryetugidde mu kkomera nga August 10, 2019 oluvannyuma lw’okusingibwa emisango egy’obwa mulyabuto.

Omulangira Andrew ne nnaggagga Epstein babadde bafanfe era amawulire agabadde gattottola enkolagana yaabwe nga galaga engeri bannende bano gye babadde bafutubbalira ku bwana bwa bandi obuwala.

Bwe yabadde yennyonnyolako ku ttivvi, Andrew ate yabyonoonye bwonoonyi ne yeeyiwayo nti ddala abadde akolagana ne Epstein.

Kino kyatuusizza balooya b’abamu ku bazadde b’abaana abaakabassanyizibwa okusaba gavumenti ya Bungereza ekwate Omulangira Andrew ssinga alinnya ekigere mu America.

Kino kyakubye wala nnyo Abangereza olw’engeri Omulangira gy’attattanye Obwakabaka n’olulyo Olulangira era abagoberezi b’ebyobufuzi obw’ennono baategeezezza nti kino kyekango kyennyini ekikyasinze okuwuniikiriza amatu okuva mu 1936, Kabaka Edward VIII bwe yasalawo okuva ku nnamulondo asobole okuwasa nnakyeyombekedde Wallis Simpson enzaalwa ya America.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.