TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusomesa wa King Fahad asobezza ku wa nassale omulenzi

Omusomesa wa King Fahad asobezza ku wa nassale omulenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2019

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza ku mwana wa nassale ow’emyaka etaano.

Nnasale 703x422

Minisita Nakiwala Kiyingi nga yeekebejja omwana eyasobezeddwaako. Ku ddyo ye musomesa Ismail Muyomba

Ismail Muyomba mu kiseera kino akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi e Katwe ng’okubuuliriza kuno kugenda mu maaso ye yakwatiddwa.

Kitaawe w’omwana ono, Musa Mukooza (si ge mannya ge amatuufu) eyabadde ayogera ng’amaziga gamuyitamu, yategeezezza nti omwana we abadde wa kisulo, nti yali ali ku mulimu, ab’essomero ne bamukubira nti anone omwana we kuba mulwadde.

Mu kiseera kino Mukooza yali wala kwe kukubira omu ku ba famire anone omwana ku ssomero amutwale mu ddwaaliro. Bwe baatuuka ku mwana, baasanga aliko obubonero obulaga nti yasobezebwako era kino kyakakasibwa abasawo abaamukebera.

‘Bwe nakomawo, omwana n’ambuulira ebyamutuukako. Amaziga gaatandika okumpitamu’, Mukooza bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti omwana yamubuulira byonna ebyaliwo n’alumiriza omusomesa Muyomba byonna bye yamutuusaako.

Abazadde baatutte ensonga ku poliisi eyasitukiddemu n’ejja ekwata omusomesa n’emuggalira, n’etandika okubuuliriza era nga ekirindiriddwa lipooti ya musawo.

Akulira eby’okunoonyereza ku poliisi e Katwe, Allan Twishime Rukema yategeezezza nti Muyomba baamugguddeko omusango gw’okusobya ku mwana ku fayiro nnamba CRB 188/2019, era ng’ekiseera kyonna bamutwala mu kkooti.

MINISITA NAKIWALA KIYINGI ABIYINGIDDEMU

Minisita avunaanyizibwa ku by’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi, yakyalidde ku mwana ono mu ddwaaliro e Nakasero gy’ajjanjabirwa n’asaasira abazadde olw’omwana waabwe okutuusibwako obuvune buno.

Nakiwala okuyingira mu nsonga zino yamaze kufuna bbaluwa eyamuwandiikiddwa bannamateeka ba Mirembe & Co. Advocates nga bamusaba okuyamba ku musango guno abazadde n’omwana bafune obwenkanya.

 Essomero lya King Fahad.

Nakiwala Kiyingi yalayidde okugoberera ensonga eno okukakasa nti omusomesa eyakoze ekikolwa kino abonerezebwa n’ekibonerezo ekikakali okuyigiriza abalala obutatyoboola ddembe lya baana be bateekeddwa okukuuma.

AB’ESSOMERO LYA KING FAHAD BOOGEDDE

Akulira essomero lino Hajati Halimah Nabacwa yakkirizza nti ensonga zino bazimanyiiko nti era omusomesa waabwe ayogerwako baamukwasa poliisi emunoonyerezeeko nti kyokka bakyalinda n’ebbaluwa y’omusawo.

Yagambye nti tebayinza kubikkirira musomesa waabwe bwe kiba nti kituufu yazza omusango nti kyokka balina kugendera ku binaaba bizuuliddwa mu lipooti y’omusawo wa poliisi.

Musa Kalongo, omu ku baddukanya essomero lino yagambye nti metulooni waabwe yabategeeza nti omwana yamulaba baakava mu luwummula nga baakadda ku ssomero nti era kyandiba ng’obuzibu buno yabufunira waka.

Kalongo agamba nti mu kiseera abayizi ba P7 we baakolera ebigezo, baasindika abayizi ab’ebibiina ebya wansi mu bazadde baabwe ne bamalayo ennaku bbiri era ebigezo bwe byadda, abaana baakomawo ku ssomero nga kirabika mu kukomawo, omwana ono yajja afunye ekizibu kino.

Yasabye abazadde b’omwana okukozesa abasawo b’eddwaaliro lya gavumenti nga Mulago nti bo ng’essomero, bawulira nga lipooti evudde mu ddwaaliro lya gavumenti bagikkiririzaamu okusinga endala yonna evudde awalala ng’abazadde kye bagezaako okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled3 220x290

‘Gy’otega amaggwa...’

ABAAGEREESA nti gy’otega amaggwa gye bakuzza anti lutuukira bulungi ku ba KCCA bano abaagudde mu kinnya kyabwe....

Pala1 220x290

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala...

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu...

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 220x290

Fayinolo ya liigi mu basketball...

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...