TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Klezia etegese okusabira abalwadde ba siriimu Novena

Klezia etegese okusabira abalwadde ba siriimu Novena

By Ponsiano Nsimbi

Added 22nd November 2019

NGA Uganda yeetegekera okukuza olunaku lwa siriimu olukuzibwa mu nsi yonna nga December 1, Klezia etegese Novena y’okusabira abantu abafa n’abaazaalibwa n'akawuka ka siriimu.

Novena11 703x422

Okusaba kuno kutandise leero ku Lwokutaano ku lusozi lwa Queen of Peace e Kiwamirembe ku Lwokutaano ng’omukolo gwakutandika nakutongoza kibiina ky’abaana n’abavubuka abazaalibwa n’akawuka  ekya HIV infected Children & Youth Foundation(HICYF).

Fr. Edward Kabanda akulira ekifo kino yategeezezza nti ekigenderwa kya Novena  eno ey'ennaku omwenda kwe kusabira abantu abaafa siriimu, abaana n’abavubuka abazaalibwa nakawuka saako okuyamba abantu abayita mu mbeera eno n’okubasembeza okumanya nti waliyo ababafako.

Yagambye ekibiina kino kirimu abaana abali wakati we myaka 6 ne 18 abava mu disitulikiti ye Wakiso nga mu nteekateeka eno bakubayamba okulaba nga basoma, bafuna okufiibwako okw’enjawulo, okubudaabudibwa n’okufuna eddagala mu budde.

Awadde abazadde amagezi okubulira abaana baabwe amazima nga bakyali bato kibayambe okufuna obuyambi  n’okubatandisa eddagala mu budde.

Yeekokkodde bannaddiini ababuzabuza abantu nga babulira enjiri ey’obulimba nti siriimu awona ne batuuka n’okubakyayisa okumira eddagala.

Yasabye abantu okujjumbira okwekebeza n’okukwekuuma kyokka ng’ekikulu mu byonna kwekukwata ebiragiro bya Katonda n’okubiteeka mu nkola.

Yakomekkereza ng’akowoola Bannayuganda bonna okuyamba abaana abali mu mbeera eno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.