TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM beekandazze mu lukiiko lwa Bantaliza lwa ssente

Aba NRM beekandazze mu lukiiko lwa Bantaliza lwa ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2019

Bano beebunguludde omu ku omu okukkakkana ng’ekizimbe kigenda kikala kyokka waliwo abaasazeewo okulinnya akatuuti ne batandika okuwanda omuliro. Bano baategeezezza nga bwe bakooye pulezidenti okubawa ssente z’okwekulaakulanya ne zibulira mu be baayise abanene, okukuyeganga ne batuuka n’okukozesa ssente zaabwe kyokka ne watabaawo kye babawa.

Banyiivu2 703x422

Lt. Jafari Mugerwa (ku ddyo) ng'akkakkanya Charles Ssentongo omu ku baabadde mu lukiiko.Wakati ye Rtd. Col. Shaban Bantaliza.

Bya Joseph Zziwa

ABAWAGIZI ba NRM beekandazze ne balekera amyuka omwogezi wa Gavumenti, Rtd Col. Shaban Bantaliza olukiiko oluvannyuma lw’okukizuula nti ensonga eyabadde ebaleese yabadde agyebalamye ate abalala ne bawanda omuliro ku bunnanfuusi Gavumenti bw’ebalaze.

Bino byabaddewo ku Lwokuna ku muzikiti gwa Old Kampala abakunzi ba NRM mu Kampala abasoba mu 400 bwe baabadde bakung’aanye nga basuubira okubawa ssente okuva mu State House bakulaakulanye Sacco nga bwe baali baasuubizibwa.

Bano baakedde kweyiwa mu kifo kyokka baakanze kulinda bakungu nga teri alabika nga zaabadde zikunukkiriza ssaawa 8:00 ez’emisana Rtd. Col. Bantaliza n’alabikako olwo ne baddamu essuubi.

Mu bigambo Bantaliza bye yayogedde temwabadde kya kubawa nsimbi mu kadde ako nga bwe baabadde basuubira okuggyako okubasindika baddeyo bakole SACCO endala ennene, okukozesa eddembe NRM lye yabaleetera basobole okweggya mu bwavu n’okulekerawo okulonda abakulembeze abatabayambye okuggyako okutabula eddembe.

Bano beebunguludde omu ku omu okukkakkana ng’ekizimbe kigenda kikala kyokka waliwo abaasazeewo okulinnya akatuuti ne batandika okuwanda omuliro. Bano baategeezezza nga bwe bakooye pulezidenti okubawa ssente z’okwekulaakulanya ne zibulira mu be baayise abanene, okukuyeganga ne batuuka n’okukozesa ssente zaabwe kyokka ne watabaawo kye babawa kw’ossa n’ekya pulezidenti okumala galonda abantu abatalina kye bakoledde kibiina bbo n’abaleka nga basiiwuuse.

Bano baategeezezza Bantaliza nga bwe batakyayagala muntu mulala kubasisinkana okuggyako pulezidenti kuba abazzenga babasisinkana boogera ebintu bye bimu naye ne batatuukiriza.

Bantaliza eyalabise ng’asobeddwa olw’obusungu bano bwe baayolesezza yategeezezza nga bw’ategedde obulumi bwabwe na wa gyebuva era n’abasuubiza okutuusa obubaka bwabwe ewa Pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....