TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalina emigabo mu Vision Group basanyukidde amagoba ge baakoze

Abalina emigabo mu Vision Group basanyukidde amagoba ge baakoze

By Benjamin Ssebaggala

Added 23rd November 2019

Abalina emigabo mu Vision Group basanyukidde amagoba ge baakoze

Lab1 703x422

Akulira Vision Group, Robert Kabushenga (atudde ku kkono, Ssentebe omuggya Patrick Ayota, Polof. Chibita eyawummudde n’olukiiko olupya olufuzi.

BANNANNYINI migabo mu kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde basanyukidde amagoba kkampuni g’ekoze mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde ne bagamba nti newankubadde galabika ng’amatono kyokka abagikulira bafubye okugiyimirizaawo obulungi. Baasinzidde mu lukiiko lwa bannanyini migabo olwa buli mwaka olwatudde ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area ku Lwokuna.

Mu lukiiko luno mwe baayanjulidde ssentebe w’olukiiko olufuzi omuggya Patrick Ayota ng’adda mu bigere bya Polof. Monica Chibita eyawummudde. Chibita yalangiridde nti omwaka gw’ebyensimbi 2018/19 ogwakomekerezeddwa nga June 30, kkampuni yakoze amagoba ga buwumbi 2.1 okwawukana ku mwaka 2017/18 mwe yakolera obuwumbi 2.4.

Ku magoba g’omwaka guno, bannannyini migabo baafunyeeko akawumbi kamu n’obukadde 900 nga buli mugabo bagusasudde 25/-. Polof. Chibita yawummulidde wamu ne Oode Obella oluvannyuma lwa bombi okuweereza ku lukiiko olufuzi okumala emyaka 9.

Abaalondeddwa ku bwadayirekita kuliko: Moses Mwase ne Peter Kawumi ate ye Sarah Irene Walusimbi ne Aeko Ongodia baalondeddwa okujjuza ebifo bibiri ebyabo abaawummudde.

Patricia Ojangole yalondeddwa atuule ku kakiiko akabalirizi k’ebitabo. Akulira Vision Group, Robert Kabushenga yagambye nti ekimu ku biyambye kkampuni okubeera ng’etuuka ku buwanguzi, tewali kusika muguwa mu bukulembeze. Yayongeddeko nti Polof. Chibita yalese alambise kkampuni ekkubo ly’erina okukwata era tagirese mu masang’anzira.

Yakakasizza bannannyini migabo nti olukiiko olufuzi oluliwo mu kiseera kino lwamaanyi okusinga ku nkiiko ezaali zibaddewo ne yeeyama nti waakukola kyonna ekisoboka okulaba ng’amagoba ga bannannyini migabo galinnya.

Kabushenga yannyonnyodde nti okusinziira ku lipooti ya Reuters Institute, Digital News Report 2019, abantu abasoma amawulire bagenze bakyusa emikutu kwe balina okugasomera. Abantu ebitundu 71 ku 100 baagala mikutu gya yintaneeti nga ‘social media’ ne ku simu ez’omu ngalo.

Embeera eno y’emu etataaganyizza empapula z’amawulire mu Uganda kubanga okunoonyereza kulaga nti abasomera amawulire ku yintanenti bali ebitundu 16 ku 100 ate abagasomera ku mpapula bali ebitundu 4 ku 100.

Ekitongole kya ABC kyafulumizza lipooti omwaka guno ng’abagula empapula z’amawulire beesazeeko ebitundu 3 ku 100 okwetooloola Africa wabula mu Uganda, empapula za Vision Group okuli New Vision ne Bukedde zikyefuze akatale mu kuyingiza ssente n’okutunda kkopi ennyingi. Wabula bwe baayise Andrew Muhi eyayogedde ku lwa bannannyini migabo yeewuunyizza okubeera nga New Vision yayingiza obuwumbi 90 kyokka amagoba ne gabeera obuwumbi 2.1.

Yajjukizza ebyafaayo nti mu 2006 kkampuni yakola obuwumbi 29.6 ng’efuna amagoba ga buwumbi 2.4. Tumuhimbise yalaze okwennyamira ng’agamba nti Bannamawulire abakoze okumala ekiseera nga bafunye obumanyirivu obumala bagenze balekawo omulimu gw’okuwandiika ne baddukira mu bitongole okukola egy’okubyogerere ewali ku misaala emisava.

Yasabye abakulira kkampuni nakyo bakirowoozeeko kkampuni ereme kufi irwa bantu be batendekedde ebbanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...

Bab12 220x290

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika...

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika

Malac 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...