TOP

Bryan White byongedde okumwonoonekera

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd November 2019

Bryan White byongedde okumwonoonekera

Br1 703x422

Bryan White

OMULI wa ssente, Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White ali mu kattu lwa bbanja lya bukadde 1000.

Ekitongole kya poliisi ekikola ku buzzi bw’emisango egy’amaanyi ekya Directorate of Criminal Investigations kyekyamukutte ku Lwokutaano ku bigambibwa nti yatwala emmotoka ez’ebbeeyi nga tasasudde ate ne landiloodiwe amubanja.

Ng’akwatiddwa mu bamubanja mwe mwajjidde ne Capt. Mike Mukula eyategeezezza nga bwe yakwatiddwa olw’okweyita ow’amaanyi nantagambwako n’ebirala.

Mukula ye ssentebe wa NRM mu buvanjuba bwa Uganda, Bryan White yamusanze ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli.

 byekwerinda nga bazinzeeko amaka ga ryana hite okutwala emmotoka zeyaliraako amabanja Abeby'okwerinda nga bazinzeeko amaka ga Bryana White okutwala emmotoka zeyaliraako amabanja

 Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, ASP. Charles Twine yategeezezza Bryan White yakwatiddwa lwa kufuna mmotoka mu lukujjukujju.

Yategeeza nti Bryan yabalaze nga bwe yagula emmotoka ku Yassah Matovu Seguya n’alaga ne lisiiti za bbanka kyokka baagenze okuzeetegereza nga nkadde zezimu ku ze yakozesa mu kugula emmotoka ezaasooka ate nga z’alaga ng’empya ez’emmotoka ezaasembayo z’ataasasula. Nti kino kye kireetera poliisi okwebuuza oba nga Bryan teyalina kigendererwa kubba Yassah Matovu. Nti n’emmotoka ezoogerwako, tezaagoberera mateeka ga nsi yonna ag’ekitongole kya poliisi y’ensi ekya Interpol ekirina okukakasa nti emmotoka zonna ez’ebbeyi bwe ziba zitambuzibwa mu nsi, kirina okusooka okumanya ebizikwatako n’entambula zaazo.

 bimu ku byuma ryan hite byabadde avuga Ebimu ku byuma Bryan White by'abadde avuga

Bryan White yakwatiddwa kuva mu makage e Buziga mu ggombolola y’e Makindye n’atwalibwa ku poliisi n’emmotoka bbiri ezoogerwako. Emmotoka eyokusatu yalondoddwa n’ekwatibwa ku luguudo lw’e Ntebbe. Buli emu egula obukadde nga 350.

Mu July wa 2018 era poliisi yalumba Bryan White nga kigambibwa nti yali yafuna emmotoka mu bukyamu. Ku olwo eyogerwako yali ya Mercedes Benz Cross Country, Bryan White gye yategeeza nti yagigula ddoola 100,000 mu za Uganda obukadde nga 370 n’asigala ng’abanjibwa era ebbanja lye lyamukwasa ku olwo.

Mukula yategeezezza poliisi nti abanja Bryan White amubanja balansi wa bukadde 200.

Landiloodi naye amubanja obukadde 500.

Ebirala ku Bryan White

ryan White yanzalamu omwana kati wa myaka 17 - Nabwemagehttps://www.bukedde.co.ug/bukedde/ag%E2%80%99eggwanga/1475819/bryan-white-yanzalamu-omwana-kati-wa-myaka-nabwemage

Bryan White b'azze aneneng'ana nabo

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1507832/bryan-white-bazze-anenengana-nabo

Ensonga z'ebbanja lya Bryan White zikutte enkandaggo

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1495512/ensonga-zebbanja-lya-bryan-white-zikutte-enkandaggo

ryan White bamuwadde ennaku 14 okwewozaako ku musango gw'obukadde 135 ezimubanjibwa;

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1506597/bryan-white-bamuwadde-ennaku-14-okwewozaako-ku-musango-gwobukadde-135-ezimubanjibwa

Bryan White bamututteko emmotoka ye n'atunula ebikalu;

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1481634/bryan-white-bamututteko-emmotoka-ye-natunula-ebikalu

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...