TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba SASAKAWA balambudde abalimi mu bitundu eby'enjawulo ne basiima abongodde ku mutindo

Aba SASAKAWA balambudde abalimi mu bitundu eby'enjawulo ne basiima abongodde ku mutindo

By Ponsiano Nsimbi

Added 24th November 2019

Aba SASAKAWA balambudde abalimi mu bitundu eby'enjawulo ne basiima abongodde ku mutindo

Sak1 703x422

Abakungu ba SASAKAWA nga balambula abalimi

MUKAWEEEFUBE w’okulwanyisa obwavu mu maka,okutumbula endya ennungi ,okulwanyisa enjala n’okwongera omutindo ku birime ekitongole ky’obwanakyewa ekya SASAKAWA Global 2000 nga kiyambibwako aba IFAD balambudde abalimi mu disitulikiti ez’enjawulo.

Okulambula kuno kwatandikidde mu disitulikiti ye Kamuli mu Busoga ng’eno balambudde abalimi ba ssoya ab’enjawulo era nga babalaze ebintu eby’enjawulo bye bafunye okuva mu kulima ssoya okuli okusomesa abaana,okuzimba amayumba,okugula ettaka,okufuna emirimu ne ssente n’ebiralala.

Bano oluvannyuma beyongedeyo mu disitulikiti ye Nakaseka gye balambulidde abalunzi b’embizzi ,enkoko n’abalimi ba kasooli,emmwanyi ,ebitooke, enva  nga bangi ku bano basobodde okwongera omutindo ku bintu bye bakola nga beyambisa amagezi agabaweebwa aba Sasakawa n’abalimisa baabwe ab’omubitundu.

Abamu ku bammemba abalambuddwa kuliko Ruth Sseruwu,steven Sseruwuma,James Kasakya,Henry Ssebyala n’abalala.

James Murangira avunanyizibwa ku makungula n’omutindo yagambye nti abalimi bangi balemedde mu bwavu olw’obutamanya ng’eri gye bayinza kwongera mutindo ku bintu bye bakola nga yensonga lwaki bavaayo okubayigiriza ennima ey’omulembe ssaako okulima emmere ekula amangu ate nga yattunzi

Yagambye bakyusiza obulamu bwa bantu abasoba mu 10,000 mu disitulikiti ez’enjawulo okuli Gulu,Lira,Kamuli,Tororo,Iganga,Buikwe,Mukono,Luweero,Kiboga ,Nakaseke n'endala.

Ate ye Juliet Nakitende avunaanyizibwa ku kutekerateekera n’okulonda ebikolebwa mu Sasakawa  yasabye gavumenti eyambe abalimu okubasembereza ebikosebwa n’okola amakubo kibanguyize okutusa ebirime bya bwe mu butale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kcca 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Pata 220x290

Mukyala wange tamanyi kulabirira...

MUKYALA wange tamanyi kulabirira baana be era omukozi y’alabirira. Omukozi bw’agenda, awaka tubeera bacaafu, abaana...