TOP

Nakakande yeesunga ngule ya Miss World

By Martin Ndijjo

Added 25th November 2019

Nakakande atandise namaanyi mu mpaka Miss World. yesooze fayinolo mu mutendera gw’okumoddola nga boolesa emisono

Missugandanakakande8 703x422

Nakakande

Oliver Nakakande nnalulungi wa Uganda omujja atandise namaanyi mu mpaka za nnalulungi w’ensi yonna (Miss World) n’awa Bannayuganda essuubi ly’okusitukulira mu ngule y’omwaka guno.

Leero yesooze fayinolo mu mutendera gw’okumoddola nga boolesa emisono (modeling) ogumu ku mitendera egivuganyizibwako mu mpaka zino bw'amalidde mu bawala 10 abasooka.

 akakande owokusatu ku ddyo nabamu ku bawala bavuganya nabbo Nakakande ow'okusatu ku ddyo n'abamu ku bawala bavuganya nabbo.

Obuvumu n’obukugu mu kutambula ku siteegi ng’amoddola(cut-walk) bye bimu ku bimuyambye okuyitamu era abasazi b’empaka basanze akaseera akazibu okusunsulamu abawala 10 olw’omutindo omulungi bonna 40 abayisemu eggulo (ku Ssande) gwe bolesezza.

Kino kiwadde Bannayuganda essanyu n’essuubi nti Nakakande ayinza okukola obulungi mu mpaka z’omwaka guno okufaananako ne Quiin Abenakyo gwe yadidde mu bigere eyamalira mu batano abasooka oba ye okusingawo.

Ekumi abayisemu okugenda ku fayinolo kuliko; Brazil, Czech Republic, France, Hong Kong China, India, Kazakhstan, Nigeria, Trinidad & Tobago, Uganda ne Vietnam.

Nakakande avuganya n’abawala abalala 129 okuva mu nsi ezenjawulo mu mpaka eziyindira mu kibuga London ekya Bungereza,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....