TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Makindye batongozza ekisinde kya 'Yellow Power'

Ab'e Makindye batongozza ekisinde kya 'Yellow Power'

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2019

'Ekisinde kino kyakuyambako okukkakkanya okwekalakaasa mu bitundu eby’enjawulo nti singa abantu baba n’obutali bumativu eri gavumenti be bantu be balina okutuukirira ne basobola okutuusaayo obuzibu bwabwe ewa pulezidenti era ne bugonjoola wamu n'okumanyisa abantu NRM by’esobodde okukola n’ebikyagaanye, okusinziira ku bweyamo bwe yakola ng'ejja mu buyinza.'

Abemakindyengabatongozaekisindekyayellowpoweremakindyekupapazspot2 703x422

Ab'e Makindye nga batongoza ekisinde kya Yellow Power e Makindye ku Papaz Spot.

BYA ROSEMARY NAKALIRI

Abavubuka b’e Makindye si bamativu olw’engeri ssente z’abavubuka gye zigabwamu ng’abasinga tebazifuna okusobola okwekulaakulanya.

Bino baabyogeredde ku mukolo gw’okutongoza ekisinde kya ‘yellow power’ ogwabadde  e Makindye ku Papaz Spot ng’eyabadde omugenyi omukulu Aisha Nakaayi muwala wa Gen. Salim Saleh yakiikiriddwa Shamim Nanfuma akulira ebibiina bya bamufunampola mu Kampala Metropolitan.

Nanfuma yategeezezza nti ekisinde kino kyakuyambako okukkakkanya okwekalakaasa mu bitundu eby’enjawulo nti singa abantu baba n’obutali bumativu eri gavumenti be bantu be balina okutuukirira ne basobola okutuusaayo obuzibu bwabwe ewa pulezidenti  era ne bugonjoola wamu n'okumanyisa abantu NRM by’esobodde okukola n’ebikyagaanye, okusinziira ku bweyamo bwe yakola ng'ejja mu buyinza.

Haruna Nambale ssentebe w’ekisinde kino  yategeezezza   nti ekisinga okuggya abantu mu mbeera ze ssente eziweebwa abakulembeze ababatwala mu bitundu byabwe okwekulaakulanya naye ne zitabatuukako.

Yagambye nti ekisinde kino kyakumalawo obuzibu buno era nga baasuubizza abantu nti gavumenti yaakuvaayo ebayambeko mu kukulaakulanya bizinensi zaabwe entonotono ze beetandikiddewo basobole okwekulaakulanya.

Bano baabadde beegattiddwaako abatuuze b’e Makindye abeegattira mu kibiina kya Makindye Cooperative Union  nga bano baasabye abakulembeze b’ekisinde kino baleme kubakozesa nga ddaala lyabwe okwenoonyeza ebyabwe wabula babayambeko okubabasakira eri pulezidenti basobole okwekulaakulanya mu SACCO yabwe kuba bagamba abavubuka bangi baagala okwegatta ku kibiina kyabwe naye ebikozesebwa bitono ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’