TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 79 atutte bba mu boobuyinza lwa kumugoba mu nju n'awasa omulala

Ow'emyaka 79 atutte bba mu boobuyinza lwa kumugoba mu nju n'awasa omulala

By Saul Wokulira

Added 25th November 2019

NNAMUKADDE Ruth Nakyami ow’emyaka 79 addukidde mu boobuyinza n’aloopa bba Andereya Kunegena ow’emyaka 81 gwe bamaze naye emyaka 63 mu bufumbo olw’okumugoba mu maka gaabwe n’awasa omukazi omulala.

Kunegenaeyagobyemukyalawebwebamazemubufumboemyaka63ekifsaulwokulira 703x422

Kunegena ne mukyala we gw'agobaganya mu maka.

NNAMUKADDE Ruth Nakyami ow’emyaka 79 addukidde mu boobuyinza n’aloopa bba Andereya  Kunegena ow’emyaka 81 gwe bamaze naye emyaka 63 mu bufumbo olw’okumugoba mu maka gaabwe n’awasa omukazi omulala. 

Omukazi alumiriza bba okubeera omujoozi ow'ebbaluwa kubanga ku kusajjalaata agattako okuduula era yamutegeeza nti tamweguya kubanga ye abakazi bamuyaayaanira ate bw'anoga emmwaanyi ssente azimalira mu bakazi.

Bino bibadde ku kyalo Kirimampoca mu ggombolola y'e Kitimbwa mu disitulikiti y'e Kayunga. 

Nakyami yaddukidde mu ofiisi ya Collins Kafeero avunaanyizibwa ku bintu by'abafu, okukuuma n'okutumbala eddembe ly'obuntu e Kayunga n'aloopa bba Kunegena.

Nakyami agamba nti bba Kunegena yeekobaana ne bannyina okuli Mary Kukkiriza ne Spera Nafamba ne bamutulugunya ne bamulemesa obufumbo era bano be basendera mwannyinaabwe abakazi abalala.

 maka abafumbo bano mwe babeera Amaka abafumbo bano mwe babeera.

Nakyami agamba nti asobeddwa engeri balamu be gye batandika okwalira mwannyinaabwe obuliri. Era nti bba yatuuka n'okutunda ekibanja kye baatuuyanira bombi nga ye tategedde era ne ssente ezaavaamu yazirya na bakazi be.

Yasabye Kafeero n'abobuyinza abalala bamuyambe asigale mu maka ge yatuuyanira. Ono yakoze katemba ne yeebaka n’okwebikka ne yeebikka okukakasa nti taddamu kuseguka era wano oluyombo lwasituse wakati w'abaana n'abazzukulu.

Kunegena yeegaanye eky’okugoba omukazi era olunwe alusonga mu baana be nti be balemesezza obufumbo bwe nga baawaganyaza nnyabwe.

Kafeero ng’ali n’omutabaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo, Paul Ssali baakubirizza abakadde bano okuddamu batabagane wabula n’alabula abaana okukomya okweyingiza mu bufumbo bwa bazadde baabwe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...