TOP

Abantu basatu e Mpigi babatemye lwa ttaka

By peter ssaava

Added 26th November 2019

ABATUUZE b’e Mpigi beekokkodde abagagga abakolagana ne poliisi ne bababbako ebibanja n’abaamagye abalwanyisa envuba embi abasusse okubatulugunya.

Kuba 703x422

Ssentebe w’e Buyiga, Balikoowa ng’ayanja ensonga ze. Ku ddyo ye Noordeen Ntege owa Bukedde

Abatuuze okuva mu disitulikiti ye Mpigi, Gomba ne Wakiso baabadde mu Kimeeza kya Bukedde ekyategekeddwa ku kitebe kya disitulikiti e Mpigi ku Lwomukaaga.

Ssentebe w’ekizinga kye Buyiga mu ggombolola ye Kammengo mu Mpigi, Asuman Balikoowa yategeezezza nti waliwo ekibinja ky’abatuuze ku kizinga kino ekirumba abantu n’ebissi ne babatemaatema olw’enkaayana z’ettaka era abantu basatu be baakatemebwa.

Balikoowa agamba nti ekibinja kino kirina abakiwabya nti ettaka ly’ekizinga teririiko nnannyini lyo ng’ate si bwekiri.

Ekibinja ky’abantu bano baasooka kuzimba kkomera mwe basibira abantu be baba bawambye.

N’omuserikale wa poliisi y’e Kammengo eyali agenze okutaasa abantu be batemye, nze nnamununula nga naye baagala kumutta; bwatyo Balikoowa bwe yategeezezza.

Agamba nti agezezzaako okwogera n’abantu bakolagane ne bannannyini ttaka lye Buyiga abatuufu babawe obusuulu naye Asuman Kiranda abagaana nti alina omunene mu maka g’obwapulezidenti eyabagaana okuwa busuulu era olumu abasoloozaamu ssente nti agenda kuzimutwalira abataase.

Omuwandiisi w’ekyalo kino, Andrew Kaggwa yategeezezza nti DPC we Mpigi yabuzaabuza omusango gw’omutuuze waabwe John Nitunga ekibinja kino gwe kyakoonera ennyumba ne babba n’ebintu bye byonna nga baagala kumutta ne watabaawo akwatibwa ng’ate be bamu abaawamba omuserikale wa poliisi ne bamukuba era ne batavunaanibwa.

Asuman Kiranda gwe balumiriza okukulira ekibinja ekitema abantu yategeezezza nti abakulembeze ne poliisi tebayambye batuuze be Buyiga nga kati beekobaana n’abafere abeeyita bannannyini ttaka lye Buyiga ne batuntuza abantu nga bali wamu ne poliisi.

Ssentebe Mutuluza yategeezezza nti ensonga z’e Buyiga aludde ng’aziwulira era yatumako DPC w’e Mpigi okuzigonjoola wabula nga zirimu olutalo lw’amawanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...