TOP

Bamwongeddeko obujulizi ku by’okutta abawala

By Musasi wa Bukedde

Added 27th November 2019

Bamwongeddeko obujulizi ku by’okutta abawala

Hat1 703x422

Kaweesa nga bimusobedde mu kkooti e Wakiso.

OMUKUGU wa Gavumenti mu kwekebejja endagabutonde, Musa Kirya aleese obujulizi obulala obuluma Ibrahim Kaweesa ne banne mu musango ogubavunanibwa ogw’okutta omuwala mu bukambwe. Kaweesa avunaanibwa n'abalala okuli Eric Segawa, Isma Nyanzi ate nga Henry Musasizi yayimbulwa.

Kkooti eyatudde ku Lwokubiri e Wakiso, Kirya ng’akolera ku Government Analytical Labaratory e Wandegeya yategeezezza nti ebizibiti ebyakungaanyizibwa mbega wa poliisi e Kakiri, John Bazibu baakola okunoonyereza ne bakizuula nti Kaweesa yeetaba bulungi mu kuttibwa kw’omuwala Stella Nanfuma.

Yagambye nti mu bizibiti ebyaleetebwa kwe kwali n’amazzi agaasangibwa mu bitundu bya Nanfuma ebyekyama agaakakasa nti Kaweesa yali mu lukwe luno.

Okutuuka ku kino, abaakwatibwa mu musango guno okuli Eric Segawa, Isma Nyanzi, Henry Musasizi (yateebwa) ne Ibrahim Kaweesa baggyibwako endagabutonde (DNA) zaabwe era mu kuzigeraageranya n’amazzi ssaako omusaayi ebyasangibwa mu bukyala bwa Nanfuma ne balaba ng’eza Kaweesa zikwatagana bulungi.

Ebizibiti ebirala poliisi ye Kakiri bye yafuna kuliko akagoye ka pinka ssaako sikaati eyali mu langi ya kikuusikuusi 'Grey', enjala ku mukono gw’omugenzi ogwa ddyo n’ogwa kkono, ssaako enviiri ezaggyibwa ku bitundu by’ekyama eby’omugenzi Nanfuma.

Obujulizi buno bulaga nti abavunaanibwa abalala baakozesa kondomu nayo eyatwalibwa ng’ekizibiti poliisi ye Kakiri bwe yali ejja omulambo we gwasuulibwa.

Omuwaabi wa Gavumenti ku kkooti e Wakiso, Ivan Ndiwalana yasabye omulamuzi Damalie Lwanga okugatta lipooti y’omusawo ku bujulizi obwakaleetebwa mu kkooti kyanguyize omusango okutambula obulungi.

Kino Omulamuzi Lwanga yakikkirizza obujulizi buno ne bugattibwa ku bulala obwaleetebwa era n'asaba omusango guddemu okuwulirwa nga December 3, 2019 okuwulira omujulizi asembayo nga ye muserikale wa poliisi eyakwata abavunanibwa mu musango guno.

Nanfuma y’omu ku bawala abattibwa mu kiseera ky’okutta abawala ekyali mu Nansana, Wakiso ne Ntebe nga bano bonna kigambibwa nti Kaweesa alinamu omukono mu kuttibwa kwabwe.

Nanfuma yattibwa nga May 27, 2017 ku kyalo Lwabiggo mu Ggombolola ye Masuuliita e Wakiso oluvannyuma omulambo gwe ne gusuulibwa ku kkubo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...