TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekivvulu kya Toto Festival kyongeddwaamu ebinnonoggo

Ekivvulu kya Toto Festival kyongeddwaamu ebinnonoggo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th November 2019

Ekivvulu kya Toto Festival kyongeddwaamu ebinnonoggo

Bab1 703x422

Abooluganda Esther ne Ezekiel abagenda okusanyusa abaana.

EKIVVULU ky’abaana ekya TOTO Christmas Festival e Namboole ku luno kinyuvu nnyo. Esther Mutesasira ne Ezekiel Mutesasira abaawangudde empaka za “East Africa has Talent” be bagenda okuyimbira abaana nga bali n’abazadde. Ekivvulu kijja kubaawo ku Ssande nga December 8, 2019 e Namboole.

Kino kye kivvulu ky’abaana ekisinga obunene mu Uganda yonna era kitegekebwa kkampuni ya Vision Group efulumya New Vision. Kiyitibwa Toto olw’akatabo k’abaana aka Toto akafulumira mu New Vision buli Lwakusatu ne ku Ssande.

Abayimbi baategeezezza nga bwe beetegese okusanyusa bato bannaabwe nga babayimbira ennyimba za Ssekukkulu (Christmas carols). Grace Nampiima omukuhhaanya wa Toto Magazine yategeezezza nti abayimbi abalala kuliko Paasita Wilson Bugembe ne Fresh Kid.

Okuyingira osasula 10,000/- nga kwe kuli abaana okwetaba mu mizannyo nga “bouncing castles”, swimming pool n’okutonaatona abaana (face painting). Ekivvulu kirimu n’okuzuula ebitone ebyenjawulo mu baana era bajja kuwangula ssente obukadde bubiri.

Emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa 1:00 ku makya ate ekivvulu kikomekkerezebwe ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo okusobozesa abaana okuddayo eka nga bukyali......

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans