TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente 1,470,938,598 okulwanyisa obulwadde bwa TB

Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente 1,470,938,598 okulwanyisa obulwadde bwa TB

By Martin Ndijjo

Added 1st December 2019

Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente z’okulwanyisa obulwadde bw'akafuba.

Tb 703x422

Bebe Cool (ku kkono) nga bamukwasa ceeke.

Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente z’okulwanyisa obulwadde bwa kafuba. Mu kaweefube gw’aliko okulwanyisa obulwadde buno, Bebe Cool (Moses Ssaali) yasisinkanye n’ayogerezeganya n’abavujjirizi b’ensimbi mu byobulamu abaamuwadde ssente ziyambeko mu kkampeyini gy’aliko okusomesa n’okumanyisa Bannayuganda obulabe obuli mu bulwadde buno, engeri y’okubulwanyisa n’okwewala okubusaasaanya.

Ng’ayita mu kibiina kya Amber Heart Foundation, Bebe Cool ali mu ggwanga lya Vietnam yasisinkanye aba TB Reach abaamuwadde ddoola 398,344 (mu za Uganda 1,470,938,598) zimuyambeko mu kaweefube gw’aliko.

Emyaka ebiri egiyise Bebe Cool yalondebwa ab’ekitongole kya ‘Uganda Stop TB Partnership’ (USTP) nga bali wamu ne ‘Geneva Partners United Nations Office for Project Services’ (UNOPS) okubeera ‘Ambaasada’ wa Uganda mu kaweefube w’okufufuggaza obulwadde bw’akafuba.

Lipooti y’ebyobulamu eraga nti Uganda ekyali mu mawanga 30 agakyasinga okukosebwa olw’obulwadde buno mu nsi yonna.

Obulwadde bw’akafuba bukyali bwa bulabe nnyo eri obulamu bwa Bannayuganda.

Abantu 80,000 be balwala n’okufa obulwadde buno buli mwaka omuwendo oguli waggulu ku 60,000 abafa n’okukwatibwa akawuka ka siriimu.

alt=''

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.