TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyigga omusawo gwe balumiriza okusobya ku muwala ow’emyaka 13

Poliisi eyigga omusawo gwe balumiriza okusobya ku muwala ow’emyaka 13

By John Bosco Mulyowa

Added 1st December 2019

POLIISI y’e Lukaya mu Kalungu eri ku muyiggo gw’omusawo agambibwa okusobya ku kawala ak’emyaka 13 bwe kaabadde kagenze okukajjanjaba.

Labayo 703x422

Namale ne muwala we agambibwa okusobezebwako. Omusawo Mbanawe gwe balumiriza

Okusinziira ku Vianney Birungi akulira poliisi y’e Lukaya, ayiggibwa ye Ivan Mbanawe abadde omujjanjabi mu kalwaliro k’obwannannyini aka Zulayika Medical Centre and Drug Shop mu Agip Cell e Lukaya.

Birungi yategeezezza nti bino okubaawo kyaddiridde maama okusindika muwala we okujjanjabwa omusujja gw’embiro n’okusesema.

Maama agamba nti omwana yasoose kutya okumugamba ebyamutuusiddwaako okutuusa nga wayise olunaku n’amugamba addeyo ew’omusawo amaleyo eddagala.

Omwana yalaze ng’atidde nnyo kwe kumukambuwalira n’alyoka amutegeeza nga bwe baamusobezzaako.

“Omwana alumiriza nti omusawo bwe yamaze okumuteekako eccupa y’amazzi yamulagidde okuggyamu akawale n’atandika okumutigaatiga nga bw’amubuuza oba alina obwagazi bw’awulira nti era ekyaddiridde yasumuludde empale n’atandika okumukozesa” Maama bwannyonnyola.

Maama yalumbye omusawo kyokka bwe yabimubuuzizza n’abyegaana, kwe kujjukira okuyita poliisi eyatuuse ng’omusawo amaze okwemulula.

Omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Matovu Medical Centre gye baamukeberedde ne kizuulibwa nti yabadde asobezeddwako.

Poliisi yasinzidde ku alipoota y’omusawo eno n’eggula ku Mbanawe omusango gw’okusobya ku mwana oguli ku Fayiro SD: Ref 26/021/11/2019.

Oluvannyuma omwana ono yatwaliddwa e Masaka ne bamuwa eddagala lya PEP okumuziyiza obutakwatibwa kawuka ka siriimu eyamusobezzaako bw’abeera nako.

NNANNYINI KALWALIRO AGAMBA BIRIMU ENTALO Z’EMIRIMU

Zulayika Namugenyi abadde akozesa omusawo Mbanawe eyadduse, ategeezezza nti eno y’entikko y’olutalo lw’omulimu olumaze ebbanga wakati wa Mbanawe n’omukyala Jane Nabbanja.

Yagambye nti Nabbanja ye yasooka okuddukanya akalwaliro kano okumala ebbanga nti kyokka yayisibwa bubi bwe baaleeta Mbanawe okwongera okutambuza emirimu mu ngeri y’ekikugu.

Agamba nti embiranye ey’amaanyi yatandika okutuusa Namugenyi lwe yagobeddwa nti kyokka waabadde waakayita ebbanga ttono ne wabaawo eby’okukwata omwana by’alumiriza nti abirinamu omukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191205at234243 220x290

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.