TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minista Namuganza akunze abato okugenda mu Toto Festival

Minista Namuganza akunze abato okugenda mu Toto Festival

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2019

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Persis Namuganza akunze abazadde okutwala abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas Festival ekigenda okubeerawo ku Ssande eno mu kisaawe e Namboole.

Mateeka1 703x422

Namuganza

 
Ekivvulu kino kitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala n’olupapula lwa Bukedde.
 
Namuganza yagambye nti abaana bamala ekiseera kiwanvu ku ssomero ate oluwummula olusembayo ne luba nga nalwo lunene kale baba beetaaga okuwummuza ku bwongo. Wano we yasabidde abazadde okubatwala mu Toto bawummuze ku bwongo.
 
Yagambye nti abaana buli lwe batambulako bazuula ebipya ate ne bakola n’emikwano emirala ate n’obwongo bwabwe bubaako ebipya bye bulowooza era nga singa abazadde babatwala mu kivvulu kya Toto bajja kubaako bingi bye bayiga ate nabyo babiteeke mu nkola.
 
“Nange ng’enda kutwala abaana mu Toto bacakaleko ate bongere okumanya bannaabwe bye balowooza kibayambe okuva wansi ng’obwongo bucamufu ate nga busobola okuyiiya ebibazimba.” Namuganza bwe yayongeddeko.
 
Bino Namuganza yabyogedde ku Imperial Royale gya yakiikiridde Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ku mukolo kwe baasiimidde abaweereza mu Kkanisa ya Uganda.
 
Ekivvulu kyakubaamu abayimbi abato okuli Esther ne Ezekiel Mutesaasira, Fresh Kid, Wilson Bugembe ng’okuyingira 10,000/-.
 
Mu kivvulu kino, ekitongole kya NIRA kigenda kuwandiisa abaana okufuna ebbaluwa zaabwe ez’obuzaale ku 7,500/- zokka kale tosaanye kusubwa mukisa guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.