TOP
  • Home
  • Embaga
  • Okukyala kwa Ssengooba munywanyi wa SK Mbuga kwabadde nga kwanjula.

Okukyala kwa Ssengooba munywanyi wa SK Mbuga kwabadde nga kwanjula.

By Martin Ndijjo

Added 2nd December 2019

Abdallah Ssengooba munywanyi w’omugagga SK Mbuga yalaze amaanyi bwe yabadde akyala mu bazadde ba mukyala e Kanyana mu maka g’omugagga Musa Katongole eyali akulira UTODA

Names1 703x422

Ssengooba ne Aisha Nakyanzi

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakib­inge ajjukizza Obuganda okufa ku nnono nga bakola emikolo gy’abaana abawala nga bakyaza babbaabwe mu bakadde.

Nakibinge eyabadde omugenyi omukulu mu maka ga Musa Katongole e Kanyanya nga muwala we, Aisha Nakyanzi akyaza Abdallah Ssengooba ku Ssande, yasiimye abazadde olw’okukolera omukolo gwa muwala waabwe ng’akyaza omusajja mu nnyumba n’avumirira abagikolera mu bidaala.

 sengoba ne ssenga Ssengoba ne ssenga.

Katongole ye yali aku­lira ekitongole kya UTODA ekyali kivunaanyizibwa ku ntambula ya takisi mu ggwanga ate Abdallah muk­wano gwa SK Mbuga oba tumuyite ‘nnamba ttaanowe.’

Okwanjula kwa kubaawo nga March 28, 2020 ku ffaamu ya Katongole e Kayunga-Bugerere. Ba­jeti y’okwanjula Abdallah yagimaze dda ng’eriko obukadde 200 era ye ne SK Mbuga ‘bestman’ we baas­azeewo obutatuuza nkiiko zisonda ssente kubanga bazirina.

 kuva ku kkono ajji usa atongole mulangira akibinge nomulangira alifaani akungulu Okuva ku kkono: Hajji Musa Katongole, Omulangira Nakibinge n'omulangira Kalifaani Kakungulu

Abdallah yategeezezza nti, okuggyako okubawa am­agezi ebya ssente SK Mbuga yabikozeeko n’asukka ne ku ssente ezaateereddwa mu bajeti. Mbuga naye bwe yali awasa Vivian Birungi mu November wa 2016, tebaa­musondera.

 okuva ku kkono upreme ufti heikh iliman dirangwa ajji aruna alule mulangira alifaani akungulu ne ajji atongole okuva ku kkono; Supreme Mufti Sheikh Siliman Ndirangwa, Hajji Haruna Kalule, Omulangira Kalifaani Kakungulu ne Hajji Katongole

Abakungu abalala abaabadde ku kukyala kuno kwabaddeko Omulangira Kalifaani Kakungulu, Su­preme Mufti Sheikh Siliman Ndirangwa, Sheikh Nuuhu Muzaata, Hajji Haruna Kalule, Moses Lumala, aba­suubuzi om­wabadde Ddembe alina ebizimbe bya Dembelyo ku Nasser Road, Meddie Ssebaggala ow’amasannyalaze, Sipapa n’abalala. Kwabaddeko n’abayimbi nga Haruna Mubiru nga ye yafulumizza omugole omusajja ng’ali ne ssenga Razia Nakitende, Naava Grey n’abalala.

 kuva ku kkono   buga ne sengooba Okuva ku kkono; SIPAPA, SK Mbuga ne Ssengooba

Wadde omukolo gwabadde gwa kukyala, gye gwaggweeredde ng’oyinza okuguyita ogw’okwanjula olw’obungi bw’abantu abaakwetabyeko n’ebirabo Ssengooba bye yatwalidde bazadde ba Aisha.

Olwamalirizza omukolo gw’okukyala ogwabadde munda mu nnyumba, ssenga ne Ssengooba beegasse ku bantu abalala abaabadde batudde mu weema en­nene awaabade emikolo emirala

 sengooba ne isha Ssengooba ne Aisha

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.