TOP
  • Home
  • Amawulire
  • GAV'T yekyusizza ku by'okusanyaawo ebiyiriro bya Murchision Falls

GAV'T yekyusizza ku by'okusanyaawo ebiyiriro bya Murchision Falls

By Muwanga Kakooza

Added 3rd December 2019

GAV'T yekyusizza ku by'okusanyaawo ebiyiriro bya Murchision Falls

Tap1 703x422

GAVUMENTI ekkirizza abakugu okutandika  okunoonyereza ku buzibu obuyinza okubaawo singa naggagga agenda maaso n’okuzimba ebbibiro ly’amasanyala ku biyiririo bya Uhuru ebiriraanye ebirala ebya Murchision Falls ebisangibwa ku mugga Kiyira.

Ebiyiriro byombi  bisangibwa mu  kuumiriro ly’ebisolo by’omunsiko erya Murchison Falls National Park erisangibwa e Bunyoro ne Acholi.

Kkampuni y’e South Afrika emanyiddwa nga Bonang Power and Energy y’eyagala okuzimba ebibiro ly’asanyalaze lino kyokka abantu abatali bamu omuli abalwanirizi b’obutonde bw’ensi,bannabyafuzi,abakola ku by’obulambuzi n’abalala bakiwakanya okukamala..

Gavumenti yasooka kubisimbira kkuuli.mu August 2019 wabula olukiiko lwa baminisita olwatudde mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe lwakiriza entegeka z’okunoonyereza ku buzibu obuyinza okuva mu kuzimba ebbibbiro lino kutandike. Kkampuni eyagala okussaawo ebbibiro y’egenda okukusasulira.

Minisita w’ebyamasanyalaze Irene Muloni eyabadde ne munne ow’ebyobulambuzi Polof. Ephrahim Kamuntu baagambye bannamawulire mu Kampala nti  baminisita bakirizza okunoonyereza kutandike ng’ekyenkomerero tekinasalibwawo.

Okunoonyereza kugenda kwekulungulira ku biyinza okubaawo ku buttonde bw’ensi,ebyobulambuzi,ebisolo by’omunsiko,eby’obuwangwa, n’ebirala.

Muloni yagambye nti gavumenti eyagala omwaka 2020 wegunatuukira nga Uganda esobola okukola amasanyalaze ga megawati 2500 ky’eva eyagala okwongeza ku bungi bw’amabibiro.

Ate era erina entegeka nti omwaka 2040 wegunatuukira nga Uganda ekola amasanyalaze ga megawati 41,738. Muloni era yagambye nti gavumenti erina entegeka z’okutandika okukola amasanyalaze ga nukiriya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tiya1 220x290

Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto...

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya...

Rema1 220x290

Sebunya bwe yansaba laavu saamudaaza...

REMA Namakula attottodde laavu ye ne Dr. Hamza n’atangaaza ku byaliwo mu kwanjula bwe yakyusa ssenga ku ssaawa...

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...