TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enteekateeka z'okutambula okulwanyisa obuli bw'enguzi ziwedde

Enteekateeka z'okutambula okulwanyisa obuli bw'enguzi ziwedde

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2019

Enteekateeka z'okutambula okulwanyisa obuli bw'enguzi ziwedde

Nak1 703x422

Lt. Col. Edith Nakalema akulira akakiiko akalwanyisa enguzi ng'annyonnyola ku nteekateeka y'okutambula

BYA MARGRET ZALWANGO

MINISITULE w'ebyempisa n'obuntu bulamu ng'eri wamu n'akakiiko ka Anti Corruption bafulumizza enteekateeka z'okutambula okuluubiriddwamu okulwanyisa obuli bw'enguzi mu bitongole bya Gavumenti.

Okutambula kuno kw'akubaawo olunaku lw'enkya ku lwokusatu nga Pulezidenti Museveni y'agenda okubeera omutambuzi omukulu era nga waakutuuka ku City Square ku ssaawa bbiri ez'okumakya olwo okutambula kutandike okwetoloola ebitundu eby'enjawulo bamalire ku kisaawe e Kololo awajja okubeera emikolo egiggalawo kaweefube ono.

Enteekateeka eno eyanjuliddwa ku kitebe ky'akakiiko akaateekebwawo Pulezidenti Museveni akayitibwa State House Anti Corruption Unit akakulirwa Lt.Col Edith Nakalema era nga lwe tabiddwamu abantu ab'enjawulo omubadde Minisita w'empisa n'obuntu bulamu Fr lokodo, Bannaddiini omubadde musumba Robert kayanja,Bishop Kiganda ssaako n'akulira ebidduka mu Kampala Norma Musinga.

Fr Lokodo akubirizza abantu okujja mu bungi beetabe mu kutambula kuno basobole okulaga nti ekikolwa ky'okulya enguzi kibi nnyo era kizizza nnyo eggwanga emabega.

Ye Lt Col Edith Nakalema akulira akakiiko kano ategeezezza nti pulezidenti yasazeewo olutalo lw'okulwanyisa enguzi aluleete mu bantu mu muyambeko okululuwana era wano w'asinzidde nakubiriza abantu bonna okujja mu bungi okwetaba mu kutambula kuno kubanga lino eggwanga ly'abantu kitegeeza agali awamu gegaluma ennyama.

Norman Musinga akulira entambula y’ebidduka mu Kampala ategezezza nti enguudo ezimu zakuggalwa era n'asaba abantu okugoberera abaserikale abaanabeera ku nguudo kye banaaba babagamba ssaako okupakinga mu bifo ebinaaba biragiddwa.

Abasumba ab'enjawulo okubadde Pasita Robert Kayanja , Bishop Kiganda n'abalala basabye bannayuganda bonna okusitukiramu mu lutalo lw'okulwanyisa enguzi kubanga enguzi ekosa abantu bonna nga tesosodde.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.