TOP

Ssebo nkooye okusula mu loogi mpangisiza enju

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2019

ABAAGALANA batabukidde ku poliisi omukazi n’alangira Taata w’omwana we obwenzi n’okumuteeka mu loogi ge yafuula amaka ge.

Wanda 703x422

Nnaalongo Nakyonyi ne bba Ssenkungu ku poliisi.

Nnaalongo Zam Nakyonyi 26, ne bba Sam Ssenkungu 25, omusuubuzi wa nakkati be baayanise obuziina bwabwe mu maaso g’abasirikale ng’omukazi agamba obwenzi bw’omusajja bwamuviirako okunoba kyokka bwe yakomyewo yamutadde mu loogi okumala emyezi ebiri mu kifo ky’okumusasulira omuzigo.

Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF: 12/16/11/2019. Nnaalongo yategeezezza nti bamaze ne Ssenkungu emyaka ena ng’amulinamu omwana omu. Abalongo b’amusajja mulala.

Baasooka kupangisa muzigo mwe yafunira olubuto wabula yatuuka ekiseera ne yetamwa obwenzi bw’omusajja.

Yalaba omusajja tamuweereza buyambi bwa mwana kwe kudda kyokka yagaana okumufunira ennyumba.

Ku ky’obwenzi, Ssenkugu yagambye nti omukazi si yaamusalirawo ku bakazi b’alina okuganza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.