Olukiiko luno lwayitiddwa abatuuze b’e Buttakabukirwa okuteesa ku mugagga agenda agula ekyalo kyonna mu kimugunyu n’okuteeka ssentebe waabwe Alex Mugaba ku nninga abannyonnyole ekigenda mu maaso kubanga kigambibwa atera okulabibwea n’omugagga ono.
Ku kuwaanyisiganya ebisongovu, abatuuze baalabudde Mugaba nti be balonzi era kati be baliwo kyokka omugagga gwatiitiibya talabikako.
Olukiiko lwabadde lugenda mu maaso ne zireeta omutamiivu n’atandika okuwoggana n’okwogera ebitakwatagana.
Abantu baamucoomedde abaviire n’agaana kwe kusalawo okukozesa eryanyi kyokka nga naye tagenda n’ekyaddiridde kweriga.
Omuvubuka omu yamulemeddwa batuuze banne ne bamuyambako okumuggyawo okumufulumya. Kyokka waayiseewo akabanga katono n’akomawo ekyatabudde abantu.
Ku luno waliwo omuvubuka ow’ekiwago eyazze n’amusitula n’amukanyuga wabweru. Embeera eno yaleetedde olukiiko okuyiika ne lwabuuka.
Ne ssentebe baamulemesezza okwogera ng’abantu bagamba nti abasinga baabadde bagenze.