
Razia mwannyina wa Moses Kigongo ng'akwata ssente ezimuweebwa omwami we ku mukolo gw'okwanjula e Butambula
OMUMYUKA wa sentebe wa NRM mu Uganda Hajji Moses Kigongo akuutidde omusuubuzi okukwata mwannyina ng'akalira.

Bino abyogeredde ku mukolo gwa mwannyina Razia Nabikyu eyawoowedwa Diriisa Kasozi omusubuuzi w’omuceere mu kibuga ng'omukolo gubadde Butambala ku kyalo Bugobango.

Hajji Kigongo yafulumizza Razia n'amukwasa Kasozi wakati mu nduulu ssaako n’okusakanya okwamanyi.

Omukolo gw'abaddeko abayimbi ab'enjawulo nga bakulembeddwaamu Stabua Natoro eyakubye ennyimba ezaacamudde ennyo abagole ssaako n'abagenyi abaabaddewo.






