TOP

Ababaka be bamponya okukubibwa Zaake-Nawangwe

By Kizito Musoke

Added 3rd December 2019

Ababaka be bamponya okukubibwa Zaake-Nawangwe

Set2 703x422

OMUMYUKA wa Cansala wa yunivasite ye Makerere, Polof. Bernabas Nawangwe ategeezezza akakiiko akakwasisa empisa nti ababaka ba Palamenti tebaba kumutakkuluzaako  Francis Zaake (Mityana munisipaali) yali amukubira mu bantu.

Yasinzidde mu kakiiko akakwasisa empisa akakubirizibwa Clement Ongalo Obote (Kalaki) n’ategeeza nti Zaake yabulako katono okumukuba ekikonde
era kyali kisa ky’ababaka abaamuwonya okukubwa.

Nawangwe yagambye nti wadde nga yaakayitibwa mu bukiiko bwa Palamenti emirundi egisukka 10, kyokka kye yagwako omwezi oguwedde yali takirowoozangako.

“mu kiseera ky’okuteesa kyonna Zaake yansosonkerezanga ate teyakoma awo n’olukiiko ne bwe lwaggwa era yasigala anondoola wabweru nga bwansongamu engalo nti bwe siva Makerere yali agenda kwongera okukunga abayizi beekalakaase”.

Yagasseeko nti ekiraga nti yali amaliridde okumukuba , ababaka abaamala kumuboggolera nti; “Zaake tokikola” nga mu kiseera ekyo omukono gwe gwali gunaatera okumutuuka mu kyenyi.

Nawangwe yagambye nti yawulira ng’aswaziddwa nnyo ng’omuntu ow’obuvunanyizibwa era okuva olwo atya n’okugenda mu kakiiko ka Palamenti konna akalala.

Sipiika Kadaga ye yalagira akakiiko akakwasisa empisa okunoonyereza ku neeyisa ya Zaake omwezi oguwedde olwengeri egambibwa nti teyali yaabuvunanyizibwa gye yali yeeyisizzaamu nga bali mu kakiiko k’ebyenjigiriza. Baali babuuliriza ku kyali kiviiriddeko abayizi okwekalakaasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...

Kadodi 220x290

Emmotoka esse 8 abazina akadodi...

ABANTU 8 ababadde bazina akadodi bafiiridde mu kabenje n’abalala ne bagenda n’ebisago ttakisi bwe yabasaabadde...

Annotation20200120121207 220x290

Omuko yeetonze ku by’okufa kw’omwana...

“NSABA famire ya mukyala wange Nansubuga ne bannayuganda mwenna munsonyiwe olwa mukoddomi wange John William Bomboka...