TOP

Bakuzizza olunaku lw'abalwadde ba sukaali

By Ponsiano Nsimbi

Added 5th December 2019

OBULAMU bwe bugagga ensi esaana okulwanyisa ekirwadde kya sukaali nga balya emmere ebayamba okutangira endwadde okusinga lwe banalya eddagala ng’emmere.

Noonya 703x422

Abeetabye mu kukuza olunaku lwa sukaali nga bakumba n'ebipande.

Bya PONSIANO NSIMBI

Nga bali mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kino mu ggwanga ab’eddwaliro lya lya Dr. Agarwal e Nakasero beegase ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abalwadde basukaali.

Olunaku luno lukuzibwa November 18, buli mwaka ng’ebikujjuko by’omwaka guno wano mu Uganda  byatandikidde ku City Square wakati mu Kampala ne bakumba okwetoloola ekibuga.

Dr. Febin . K.M yawadde abantu amagezi okujjumbira okwekebeza basobole okuyambibwa ng’obudde bukyali n’okwewala ebintu ebivaako obulwadde buno.

Abakwetabyemu bakulembeddwa poliisi ne bbandi nga kwabaddeko n’abayizi bamasomero ababadde bakutte ebipande okuli obubaka obulaga engeri omuntu gyayinza okulwanyisamu ekirwadde kya sukaali.

Ekirwadde kya sukaali omuntu akifuna ng’alina sukaali mungi mu mubiri era bwe kiyitirira kinafuya ekirungi kya gulukosi omuntu ky’abeera nakyo okumuwa amaanyi mu mubiri.

Kisobola okunafuya akalulwe akakola ekirungo kya ‘insulin’ ekiyambako okutabula gulukosi mu musaayi.

 
 

 

 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.