TOP

Bungereza egobye omwawule Munnayuganda

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2019

REV. Nathan Ntege afunye nnyo ettutumu e Bungereza ng’omwawule mu kkanisa ya St.Jude mu kibuga London. Bukya ava Namirembe, ayambye Bannayuganda bangi okufuna obutuuze ate bangi abagendayo okuli Abalabirizi ba Uganda gye batuukira.

Goba1 703x422

Ekkanisa Ntege gyabadde aweererezaamu e Bungereza. Mu katono, Rev. Ntege ne mukazi we Elizabeth.

Ebintu bimwonoonekedde ekkanisa ya Bungereza bw’emwambudde ne bamulagira okwamuka ofiisi mbagirawo n’okukomya okukola emirimu gy’ekkanisa ng’okukulembera okusaba oba okugatta abagole.

Okugoba Ntege y’entikko y’emisango olukunkumuli egyamutwaza mu kkooti mu 2011 nga kigambibwa nti yali akozesa ekifo kye okugatta abagole b’ekicupuli ng’ekigendererwa kyabwe kufunirako butuuze.

Ntege bamulumiriza nti yali aggya ssente ku baagala okufuna obutuuze ne bapanga obufumbo obutukuvu wadde ng’abamu ku bagattibwa tebaali bafumbo batuufu wabula ekikolwa ky’okubagatta  kyali kigenderera kufuna bbaluwa ze batwala mu Gavumenti okufunirako obutuuze.

Ntege we baamutwalira mu kkooti yali agasse emigogo egigambibwa okuba mu 500, wadde ng’obujulizi obwatwalibwa mu kkooti bwa migogo 50 gye yaggyako ssente paundi za Bungereza emitwalo musanvu (70,000) n’atazitwala mu ggwanika lya kkanisa.

Kyokka abajulizi mu musango guno baakubagana empawa, olwo looya wa Ntege n’akuba ebituli mu bujulizi bwabwe nti bwalimu obulimba. Omulamuzi kwe kugoba emisango mu 2014. Kyokka ekkanisa n’essaawo okubuuliriza okwayo. Ku Lwomukaaga akawungeezi Omulabirizi wa Croydon

Sothwark, The Rt Rev. Jonathan Clarke ng’ali ne Ssaabadinkoni Chris Skilton baagenze mu maka ga Rev. Ntege ne basangayo n’omulabirizi w’e Kampala, Hannington Mutebi ne mukazi we nga batutte ekiwandiiko ekigoba Ntege mu kkanisa.

Kigambibwa nti abaana ba Rev. Ntege  baagezezzaako okutangira Omulabirizi obutagezaako kuyisa mu kitaabwe maaso mu maka ge era omulabirizi n’ava mu mbeera n’ababoggolera. Kyokka ekiwandiiko ekiyimiriza Ntege kyamuwaddeyo omukisa 

okujulira mu nnaku 28. Ntege yava e Namirembe mu 1997 n’agenda e Bungereza. Ekkanisa ya St. Jude ne St. Aidan’s Church mu Thomton Heath, South London yamuwa omulimu gw’Obwawule (Vicar)mu 2002 era n’aweebwa obuvunaanayizibwa bw’omuwandiisi w’ekkanisa (registrar).

Yaweebwa layisinsi ey’enjawulo “Crown Licence” eno agirina takyusibwa wadde okuggyibwa mu nju y’omulimu. Akakiiko  k’ekkanisa (Tribunal) akaaanoonyerezza ku Ntege kaakuliddwa Steven John.

Lipoota y’akakiiko eraga nti Ntege yazza emisango gya nnaggomola bwe yakozesa obubi ekifo kye n’assa ekkanisa awazibu bwe yagyeyambisa okumenya amateeka ga Gavumenti ya Bungereza ng’ate Gavumenti n’ekkanisa bali bumu.

Akakiiko kanenya abakulembeze b’ekkanisa okuwa Ntege obuvunaanyizibwa obusalawo ku by’okugatta abagole nga tasoose kusindikibwa mu ttendekero ly’amateeka, y’ensonga lwaki ajuliza nnyo enkola ya Uganda ekubiriza abafumbo okugattibwa so nga e Bungereza baagala kugatta 

abo bokka abatuukiriza amateeka g’ekkanisa n’ag’ensi. Baawadde ekyokulabirako nti ekkanisa ya Ntege we yagigenderamu yali egatta abagole bataano bokka. Kyokka Ntege abadde agatta abagole 10 buli wiiki ng’ennaku ezimu agatta emigogo ebiri olunaku.

Okutandika okumubuusabuusa, ofi isi ya Gavumenti ekola ku by’obufumbo yamala kwemulugunya ku kkanisa ya Ntege eyali egasse abagole 57 omwaka n’essaawo likodi mu Bungereza yonna. Kyokka ababuuliriza ku Ntege 

baalaze nti wadde abadde munafu nnyo mu kutaputa amateeka ga Bungereza kyokka asitudde nnyo eby’ensiza.

Abuulira enjiri erimu obulamu mw’atabika okuyimba n’okutendereza mu ngeri esikiriza Abakrisitaayo ne beeyongera okujja mu kkanisa.

Obuganzi bwe yafuna olw’enkola ye ey’emirimu bwe bwavaako Omulabirizi okumuwa ekifo. Kyokka akakiiko kanenya Omulabirizi nti yandikomezza Ntege ku kubuulira mu Kkanisa n’atamuwa mirimu gya kikugu egya Registrar, ateekwa okuba kafulu mu kutegeera n’okutaputa amateeka ga Bungereza.

Omulamuzi Nic Madge bwe yali agoba emisango gya Ntege yagamba nti kyali tekitegeeza nti Ntege teyazza misango. Kyokka obujulizi obumu bwali buyinza okuggyisaamu kkooti obwesige.

NTEGE NAYE YEERWANYEKO

Nga November 11, 2019, Ntege agambibwa nti alumizibwa amagulu era ali ku miggo, yagguddewo omusango ku Croydon Police e Bungereza oguli ku nnamba 3037660/19 ng’awawaabira Obulabirizi bw’e Southwark okujingirira ebiwandiiko ne bateekako omukono gwe basobole okumusingisa omusango gw’okukumpanya paundi £60,000 nga bagamba nti abagole be yagattanga be baazisasula kyokka tezaatuuka mu ggwanika.

Yategeezezza poliisi nti yabadde talabanga ku kiwandiiko kino era si ye yakiteekako omukono wabula yeekanze mu kakiiko ke baataddewo okumunoonyerezaako nga bakireeta ng’obujulizi.

Era ne kawa ensala yaako nga Novermber 27, 2019. Ruth Marvel Nathania Ntege muwala wa  Ntege mu sitetimenti gye yakola ku poliisi, yalaga ebizibu bye baayitamu okumala emyaka munaana nga babayigganya. 

Yanokolayo ebyaliwo nga June 4, 2011, nti engeri poliisi gye yayisaamu kitaawe nga bamulengezza n’okumutyoboola mu maaso ga famire ye n’abantu abalala kyamuyiga nnyo obulamu bwe ne bukosebwa n’okusoma ne kumulema.

Ate mu April 2014, omusango mwe baavunaana kitaawe gwalagibwa butereevu ku ttivvi  era yagenda okutuuka ku ssomero ng’abaana bamusongako nga bamugeya.

Mu 2011 yalina emyaka mwenda kyokka ekimwennyamiza nti okutuusa kati nga wa myaka 17 akiraba nti omusango gukyalondoola kitaawe okumuteekako ebbala ery’olubeerera.

Elizabeth Ntege mukyala wa Rev. Ntege naye yakola sitetimenti ku poliisi n’alaga engeri poliisi gye yazingako amaka gaabwe ne babassa mu kisenge kimu kyokka nga kirimu abaserikale abakutte empingu.

Yannyonnyola nti birimu empalana, okusosola olwa langi yaabwe kubanga Baddugavu n’okuyigganyizibwa.

AB’EKKANISA YA UGANDABOOGEDDE:

Famire ya Ntege yategeezezza  nti Obulabirizi bwa West Buganda bubadde butegeka okuwa Ntege ekitiibwa kya Canon nga December 15, 2019.

Wabula Omulabirizi Rt. Rev. Henry Katumba Tamale yategeezezza Bukedde nti bwe babeera bagaba obukulu bakissa mu buwandiike. Awatali bbaluwa olwo luba lugambo.

Rev. Ntege musawo w’amaaso eyakoleranga mu Uganda Protestant Medical Bureau gye yava okufuuka omwawule n’atuuzibwa mu lutikko e Namirembe.

Canon Nelson Kaweesa omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Namirembe yategeezezza Bukedde nti Ntege yava mu Uganda mu 1997 era mu kiseera kino Church Of England y’emutwala.

Abamu ku bali ku lusegere ne Rev. Ntege bagamba nti okumugoba mu kkanisa kumuli okumukwatirwa obuggya olw’ekifo ekisava, Abazungu okumusosola olw’okuba Omuddugavu n’okwagala okumuggyawo batunde ebintu by’ekkanisa. Ntege yagobeddwa mu kkanisa ya St. Jude mu London wiiki ewedde.

Kyokka ekkanisa yagambye nti okumugoba yasinzidde ku bujulizi bwe yafunye ng’abvadde akozesa ekifo kye okugatta abagole abatalina bisaanyizo n’abalyako ssente ate n’assa mu kkanisa awazibu kubanga abagattiddwa bakozesa satifikeeti y’ekkanisa okufunirako obutuuze e Bungereza.

Ekkanisa egamba nti wadde kkooti yagoba emisango gya Ntege kyokka gyagobwa lwa bujulizi, kkooti bwe yagamba nti bwali buyinza okugiggyisaamu obwesige. Era yo ekkanisa bwe yakozesezza akakiiko kayo kaazudde nga Ntege emisango yagizza.

“Ssinga gubadde omusangu gumu osanga kikkiriza nti bamuwalana. Naye emisango giri mu 100. Ntege alina omukisa okujulira ebyasaliddwaawo ne bikyusibwa”, ekkanisa bwe yategeezezza.

Kyokka abooludda lwa Ntege  bagamba nti abadde muweeereza e Bungereza emyaka 18. Obuzibu yabufuna mu 2011, Omulabirizi eyaliwo bwe yakyusibwa ne bafuna omuggya eyeewuunya engeri Omuddugavu gye yafuna ekifo ekyo n’assibwako n’ebintu ebimuwa enkizo okuli ennyumba gy’atateekwa kuggyibwamu wadde okukyusibwa okuggyako nga basoose kuteesa.

Kigambibwa nti kkooti bwe yagoba emisango gya Ntege mu 2014, Omulabirizi yamuwa amagezi alekulire ku lulwe kyokka Ntege n’agaana era okuva olwo babadde tebakolagana.

Waliwo ebigambibwa nti mu kwagala okuggyawo Ntege, ekkanisa yagingirira ebimu ku biwandiiko ebyakozeseddwa okumulaga ng’omulyake.

Ntege ye Munnaddiini atali Muzungu asinga eddaala erya waggulu e Croydon bukya Rev. Dan Kajumba awummula. Atwalibwa ng’omukulembeze wa Bannayuganda mu London n’abamu ku bava mu mawanga amalala.

Bangi ku betaaga obuyambi we batuukira okutuusa nga beetereezezza. Kyokka n’abamu ku bava mu Uganda batuukira ewa Ntege olw’ekitiibwa kye n’okuba ng’amanyi era asobola okuwabula ku by’e Bungereza.

Omulabirizi Mutebi ajjanjabirwa e Bungereza ne mukyala we naye yatuukira wa Ntege.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...